Poliisi y'okunguudo erabudde abantu abagula emmotoka ne bagaana okuzikyusa okuzissa mu mannya gaabwe

Mar 19, 2025

ADUUMIRA Poliisi y’ebiduuka mu ggwanga AIGP/ Lawrence Niwabiine alabudde abagula mmotoka ne bagaana okuzikyusa okudda mu mannya gaabwe okukikola mu bwangu kubanga poliisi egenda kutandika okubakwata. 

NewVision Reporter
@NewVision

ADUUMIRA Poliisi y’ebiduuka mu ggwanga AIGP/ Lawrence Niwabiine alabudde abagula mmotoka ne bagaana okuzikyusa okudda mu mannya gaabwe okukikola mu bwangu kubanga poliisi egenda kutandika okubakwata.

Okusinziira ku tteeka ly’ebidduka n’okulwanyisa obubenje ku nguudo erya 1998 nga balikolamu ennongosereeza mu 2020 [Traffic And Road Safety Act] gubeera musango aguze emmotoka obutagikyusa okudda mu maanya g’oyo agikuguzeeko  nga ennaku 14 tezinayita.

            Singa omuntu gw’oguzizza mmotoka  akola omusango gwonna gamba okugibbiramu, okutemuliramu omuntu , okutomera n’emisango emirala gyonna poliisi y’ebiduuka esooka kunoonya gwe nannyini maanya agali mu kaadi y’emmotoka eyo  olwo n’obatuusa ku muntu eyagikugulako kyokka mwembi tekibaggyako musango.

            Niwabiine yagambye nti etteeka lyonna bweriyita libeera livunaanyizibwa ku buli muntu ali mu nsi gyerikoleeramu

            Yagambye  nti mu nkola empya eya nnamba za digito teri mmotoka gye bagenda kuwa nnamba eno nga kaadi teri mu maanya g’oyo agisaba kubanga enkola eno  kkamera z’oku nguudo ze zigenda okutandiika okukuba ebipapula eri abo abakozesa obubi enguudo omuli n’okugaana okuyimirira ku bittaala nga bikusiibye [Okuba ebittaala].

            “Kati mbuuza kammera zinamanya zitya nti gundi yatunda mmotoka ye wabula tanakyusa kugiza mu maanya ge, era suubira gwe nannyini maanya agali mu kaadi engaasi eno erina kuggya ku ssiimu yo gye wateekaayo nga ogula mmotoka eno mu kusookera ddala” Niwabiine bweyategezezza.

            Wabula yagambye nti abamu ku bantu abali mu kaadi z’emmotoka zino bafa, abalala bagenda bulaaya ate abalala bakyusa nnamba z’amassimu gabwe nga tebagenda kusobola kumanya oba alina ebipapula ku mmotoka  gye yatunda. Eno  y’e nsonga lwaki poliisi egenda kutandiika okuzikwata muwalirizibwe okuzikyusa.

            Mu ngeri y’emu namwe abalina mmotoka ze mwatunda nga mubadde mu kalubiriza banannyini mmotoka okuzikyusa okudda mu maanya gabwe musubire okufuna ebipapula bino ku massiimu gamwe ate mujja bisasula kubanga mu kimanyi bulungi nti etteeka liraagira ennaku 14 ng’omaze okukyusa mmotoka eno okudda mu maanya g’oyo aguze.

            Omwogezi  wa poliisi y’ebiduuka mu ggwanga SP/Michael Kananura yakattirizza nti abantu bangi babadde bagufudde omugaano okusaba abantu abaabagulako mmotoka ssente balyoke bakkirize okuzibakyusiza okudda mu maanya gabwe kati balinde nabo okubonabona

            Eyagula mmotoka kyokka nga tonagiza mu maanya go bajja kukuba tiketi kyokka naamwe aganye okukyusa mmotoka evve mu maanya go, naamwe linda ekipapula kigenda kuggya ku ssiimu yo mu nkola empya egenda okutandiika okukola  ssaawa yonna eya [Digital GPS

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});