Palamenti ekkirizza gavumenti okwewola obuwumbi 700 okuliyirira UMEME

Mar 21, 2025

PALAMENTI  ekkiriza okusaba kwa gavumenti okwewola ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi 700 okusobola okuliyirira kkampuni ya UMEME kontulakiti yaayo bw’enaabeera eweddeko

NewVision Reporter
@NewVision

PALAMENTI  ekkiriza okusaba kwa gavumenti okwewola ensimbi ezikunukkiriza mu buwumbi 700 okusobola okuliyirira kkampuni ya UMEME kontulakiti yaayo bw’enaabeera eweddeko ku nkomerero y’omwezi guno wadde nga tewali alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ku nsimbi ezirina okuweebwa ekitongole kino.

Minisita Musasizi Ng'ayogera.

Minisita Musasizi Ng'ayogera.

Ekiteeso ky’okwewola kyayanjuddwa minisita omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musasizi eyategeezezza Palamenti nti ensimbi zino zaakwewolebwa okuva mu Stanbic bank era nga zeetagibwa okusobola okuliyirira UMEME olw’ensimbi z’etaddemu mu kubuyinsa amasannyalaze wabula n’etasoboola kuzifuna mu kugatunda.

Musasizi oluvannyuma lw’okwanjula ekiteeso kino ategeezeeza Palamenti nti mu kiseera kino ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti tannaba kubawa muwendo mutuufu gwetaagisa kuliyirira wabula n’asuubiza nti ensimbi eziyisiddwa palamenti bwe zinabeera nnyingi kw’ezo ezirina okusaasaanyizibwa ku UMEME, ensimbi ezisukkamu si zaakwewolebwa.

Sipiika Among Ng'aliko By'abuuza Mu Lutuula Olwabaddewo Eggulo.

Sipiika Among Ng'aliko By'abuuza Mu Lutuula Olwabaddewo Eggulo.

Ssentebe w’akakiiko ka palamenti ak’ebyenfuna akabadde keekenneenya okusaba kwa gavumenti okwewola ensimbi zino, John Bosco Ikojo asabye gavumenti okuyimiriza okwewola ensimbi zino okutuusa nga Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti amaliriza omulimu gwe.

Sipiika Anita Among yeebuzizza oba we banaalindirira ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti okumaliriza omulimu gwe, gavumenti enaabeera n’obudde obumala okwewola ensimbi zino.

Minisita Musasizi ategeezezza nti beetaaga ebbanga eritakka wansi wa wiiki emu okumaliriza emisoso egy’okuweebwa ensimbi zino nga ssinga balindirira ssaababalirizi eggwanga ligenda kwesanga nga lirina okuwa engassi.

Omubaka wa Maracha Dennis Oguzu Lee mu alipoota ey’abatono asabye babaka banne obutayisa nsimbi zino nga ssaababalirizi tanaba kumaliriza n’asaba gavumenti ereme kwetikka mugugu gwa gavumenti eyasalawo okwebakira ku mulimu.

 

Kino wabula minisita owa masannyalaze Ruth Nankabirwa ne Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka bategezeezza nti okusinzira ku ndagaano, bwe buno obudde obutuufu ensonga eno lwe yalina okukubaganyizibwako ebirowoozo kyokka sipiika akkaanyizza ne Oguzu lee nti ensonga eno teyakwatibwa bulunji.

Omubaka owa padyere Isaac Otimgiw aleese ekiteeso bagobe okusaba kwa babaka ku kakiiko ka palamenti ak’ebyenfuna bagende n’okusaba kwa minisita okuyisa ensimbi zino awatali alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ekintu ekiyisiddwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});