Nkubakyeyo atutte nnyina ku poliisi ku by'okwezza emmaali gye yapakasiza emyaka 7
Mar 25, 2025
NKUBA kyeyo Jacklyne Nabakka atutte nnyina ku poliisi okwezza ebintu bye.

NewVision Reporter
@NewVision
NKUBA kyeyo Jacklyne Nabakka atutte nnyina ku poliisi okwezza ebintu bye.
Nabakka yagenze ku poliisi e Matugga n’aggulawo omusango ku nnyina Sharon Nannyonga ku fayiro nnamba SD:31/21/03/2025 ng’amuvunaana okwezza ebbaala ne loogi bye yazimba mu ssente z’abadde amuweereza okuva mu 2019 lwe yagenda mu Buwarabu.
Nabakka yagambye nti agezezzaako okwogerezeganya ne nnyina mu bulungi n’agaana.
Wabula Bukedde bwe yafulumizza emboozi, nnyina yatandise okumukubira essimu ng’ayagala batuule ensonga bazigonjoole.
Related Articles
No Comment