Abakungu bongedde okunoonyeza NRM obuwagizi

Mar 27, 2025

ABABAKA ba Palamenti ab’ekibiina kya NRM bongedde okutalaaga Buganda mu kaweefube w’okulaba nga baggya ekitundu kino ku b’oludda oluvuganya mu kalulu ka 2026.

NewVision Reporter
@NewVision

ABABAKA ba Palamenti ab’ekibiina kya NRM bongedde okutalaaga Buganda mu kaweefube w’okulaba nga baggya ekitundu kino ku b’oludda oluvuganya mu kalulu ka 2026.
Kaweefube ono baamutandikira mu disitulikiti y’e Kiboga gye buvuddeko ne beesogga ebizinga by’e Buvuma ku wiikendi ewedde gye baalese nga yenna bamufudde kyenvu era ne bawera nti, bagenda kufuba okulaba ng’asigala mu langi eno mu kalulu akajja.
Ku banene mu gavumenti abeetabye mu lukuhhaana luno kwabaddeko ne minisita w’ebyobugagga eby’omu ttaka Dr. Ruth Nankabirwa eyagumizza ab’e Buvuma nti, babeere bagumu bagenda kukola ekisoboka okulaba nga bakola ku ky’okuyimbula abavubi abaakwatirwa mu nvuba embi n’ebintu byabwe ebyababoyebwako bibaweebwe.
Ababaka bano n’abanene mu gavumenti okuli ne baminisita abava mu Buganda wansi w’omukago oguyitibwa ‘Buganda Caucus’ baalayidde okutuuka mu buli kitundu kya Buganda okuddamu okwagazisa abantu b’omu bitundu bino okulonda Ssentebe waabwe, Y.K Museveni gwe baagala addemu abakwatire kaadi ya NRM ku bwapulezidenti mu 2026 ssaako okubasaba balonde ababaka ba NRM okubakiikirira mu Palamenti mu kalulu akajja.
Okwawukanako ku byabulijjo abantu b’omu bitundu gye bagaana okugenda ku nkuhhaana za NRM, ku luno bwe baawulidde nti, ne baminisita bazze mu kitundu kyabwe baagenzeeyo mu bungi okusobola okubateeka ku nninga bababuulire lwaki obuweereza bwa gavumenti eno obw’enjawulo tebubatuukako nga bwekiri mu bitundu ebirala.
Minisita Nankabirwa yeeyamye okutuusa amasannyalaze mu bizinga by’e Buvuma ng’akozesa tekinologye omupya ayitibwa ‘Sea Cable Technology’ kubanga buvunaanyizibwa bwa gavumenti okutuusa amasannyalaze mu buli disitulikiti ya Uganda nga ne Buvuma mw’eri.
Baminisita abalala abaabaddeyo kwabaddeko omubeezi ow’amazzi n’obutonde bw’ensi, Aisha Ssekindi, owa ‘Micro Finance’ Haruna Kasolo n’ababaka ba Palamenti

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});