Bukedde TV ejaguzza olw’okuddamu okulondebwa nga esinga okulabibwa mu Uganda

Mar 29, 2025

Bukedde TV, ey’omuntu wa bulijjo ejaguzza olw’okuddamu okulondebwa ng’esinga okulabibwa mu Uganda

NewVision Reporter
@NewVision

Bukedde TV, ey’omuntu wa bulijjo ejaguzza olw’okuddamu okulondebwa ng’esinga okulabibwa mu Uganda

BUKEDDE TV, ttivvi y’omuntu wa bulijjo ejaguzza olw’okuddamu okunokolwayo ng’esinga okulabibwa mu Uganda n’esuubiza abalabi baayo nti yaakwongera okulinnyisa mutindo mu mpeereza ennungi.

Oluvannyuma lw’ekitongole kya IPSOS okufulumya okunoonyereza okupya okw’emyezi omukaaga egiyise, abakulira Vision Group ne Bukedde TV mw’egwa baasaze kkeeki olw’okujaguza obuwanguzi buno n’okwebaza abalabi baayo.

Akulira Vision Group, Wanyama N'abakozi Abalala Nga Basala Kkeeki.

Akulira Vision Group, Wanyama N'abakozi Abalala Nga Basala Kkeeki.

Okusinziira ku kunoonyereza kuno, Bukedde TV ye ttivvi esinga okulabibwa abantu abangi abatuuka mu bitundu 42 ku 100 n’eddirirwa NTV Uganda ku bitundu 28 ku 100.

Abalala abakongojja kuliko Spark TV ku bitundu 22 ku 100, KBS TV ku 20 ku 100 ne NBS ku bitundu 18 ku 100.

Okujaguza obuwanguzi buno okwabaddemu n’okusala kkeeki, kwabadde butereevu mu Pulogulaamu y’Ekyenkya, akulira Vision Group Don Innocent Wanyama yeebazizza Bannayuganda olw’okwagala n’okulangira ku Bukedde TV.

Maneja wa Bukedde TV, Richard Kayiira Ssaalongo yagambye nti kya muwendo okuba nti omwaka oguwedde Bukedde TV era ye yali ku ntikko n’ebitundu 28 ku 100 wabula n’esigalayo kyokka nga yeeyongedde okutuuka ku bitundu 42 ku 100. Yasiimye abalabi n’abagamba nti tebajjanga okwo.

Omukung’aanya wa Vision Group ow’oku ntikko, Barbara Kaija yagambye nti abalabi ba Bukedde be bagifudde ky’eri newankubadde bangi baasooka kugigyerega ng’etandika naye kati efuuse eky’omuwendo era Bukedde TV yaakusigala ng’eweereza ebyo ebikwata ku bantu mu ngeri zonna.

Oluvannyuma abakozi baasaze kkeeki okwekulisa olw’obuwanguzi buno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});