omuVision Groupenywezezzaenkolaganane URA

Apr 11, 2025

KKAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde enywezezza enkolagana n’ekitongole ky’emisolo ekya URA olw’okutumbula ebikwata ku byemisolo eri Bannayuganda bonna.

NewVision Reporter
@NewVision

KKAMPUNI ya Vision Group etwala ne Bukedde enywezezza enkolagana n’ekitongole ky’emisolo ekya URA olw’okutumbula ebikwata ku byemisolo eri Bannayuganda bonna.
Bakkaanyizza okwongerayo pulojekiti ya ‘Buuza Kamisona’ Bannayuganda mwe bayita okubuuza ku by’emisolo, Kamisona n’abyanukula ne bifulumira mu lupapula kwa Bukedde buli Lwakusatu, ate ne batongoza enkola y’emu mu lupapula lwa New Vision.
Atwala pulojekiti za Bukedde ffamire ez’enkizo, Semei Wessaali yagambye nti okwanukula ebibuuzo mu Bukedde kusigaddewo ng’alina ekibuuzo akisindika ku 0701625460 ate ebya New Vision ebinaayanukulwanga mu katabo k’Olwokuna bisindikibwa ku 0703409710 okuyita mu nkola ya SMS oba WhatsApp.
Akulira URA, John Musinguzi bwe yabadde atongoza pulojekiti zino yagambye nti emyezi omuVision Groupenywezezzaenkolaganane URA
sanvu gye bamaze nga baanukula ebibuuzo by’abawi b’omusolo mu Bukedde waliwo bingi ebikyuse era okusasula emisolo mu ngeri entuufu kweyongedde kw’ossa abeewandiisa ku nkola ya EFRIS bangi gye baali batannategeera.
Yeebazizza Vision Group okubeera entabiro y’amawulire agakulaakulanya abantu n’ategeeza nti enkola y’emu bagenda kugiteeka ne ku Bukedde TV kiyambe abasuubuzi, n’abawi b’emisolo bonna okwekolera ku bintu byabwe mu kusasula emisolo.
ENKOLAGANA ENDALA
URA era yakkirizza okukolera awamu ne Vision Group mu kutegeka pulojekiti omuli ey’ennyimba z’Abajulizi eya buli mwaka ssaako eya ‘Top 40 under 40, olupapula lwa New Vision mwe lufulumya abavubuka 40 abasinze okubeera ab’ensonga buli mwaka.
Akulira Vision Group Don Wanyama yeebazizza Musinguzi olw’enkola z’aleeseewo ez’okutumbula enkolagana n’abawi b’emisolo, ekijja okwongera ennyo ku misolo kubanga kati abantu bannyonnyolwa bulungi ensasula, na lwaki bawa emisolo n’ategeeza nti emikutu gya Vision Group gya kusigala nga giwa abantu amawulire agabayamba okwokulaakulanya ng’ekolagana n’ebitongole nga URA

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});