Ab'e Kawempe beesize Nalukoola okubasomosa

Apr 02, 2025

MUNNAMATTEEKA Luyimbaazi Nalukoola, eyayita ku lugwanyu okufuuka ‘Musomogwalema’, kati ab’e Kawempe North gwe batunuulidde okubasomosa ebizibu ebibatawaanya.

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAMATTEEKA Luyimbaazi Nalukoola, eyayita ku lugwanyu okufuuka ‘Musomogwalema’, kati ab’e Kawempe North gwe batunuulidde okubasomosa ebizibu ebibatawaanya.
Nalukoola yakubye ebirayiro nga omubaka wa Kawempe North, n’alaga nti obugubi bwe yayitamu ng’akula n’atuuka n’okuwanduka mu ssomero olw’obwavu obwali bwazimba akayumba ku bakadde be, amanyi bulungi abantu b’e Kawempe kye beetaaga nabo okusobola okukyusa obulamu.
Yagambye nti obuvunaanyizibwa obwamulondesezza bulambikiddwa mu nnyingo ey’e 79 eya Ssematteeka w’eggwanga, ewa Palamenti obuyinza okukola amateeka ku nsonga yonna olw’okukuuma emirembe, obutebenkevu n’enfuga ennungi.
Ku buvunaanyizibwa buno, Nalukoola agamba nti agenda kuyisa mukka mu kisero kuba amateeka teyakoma kugasoma kuwolereza bantu mu kkooti, wabula n’okugakola yakusomera ddala era agenda kwegazaanya ng’akubaganya ebirowoozo ku buwaayiro obuyamba Bannakawempe n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu. Yasuubizza;
l Okuyamba abavubuka okuyiga emirimu gy’omu mutwe, basobole okufuna emirimu gye bakola, kuba Kawempe erimu abavubuka 87 ku 100, kyokka tebalina mirimu, ate abasinga tebaweeka mirimu kuba tebalina bukugu. Singa abavubuka bano bafuna obutendeke, Nalukoola agamba nti bajja kukendeeza ku bbula ly’emirimu.
l Agamba nti agenda kukozesa eddoboozi lye n’obukugu bwe mu mateeka, okulwanirira eddembe ly’obuntu kuba abavubuka bangi mu Kawempe beesanze mu makomera olw’okutuukiriza eddembe lyabwe mu byobufuzi, kye batajja kugumiikiriza. Ate tajja kukoma ku Kawempe, wabula waakulwanirira eddembe lya buli Munnayuganda, kuba agamba nti amateeka yagasoma n’agakenkuka.
OBUZAALE BWE
Azaalibwa Madiinah Nantongo ne Swaibu Sserugooti Kajjankemba mu Kirokole mu muluka gwa Kawempe I mu Munisipali ya Kawempe.
Olw’obwavu obwagoyanga Muzeeyi Sserugooti, Nalukoola yawanduka mu ssomero n’atembeeya mu kibuga, era eno gye yasangira pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine ne bakuba emiziki, nga Nalukoola ye Dr. Dandee.Eno gye yava n’adda mu ssomero ku Kawempe Muslim Secondary School n’asoma okutuuka mu S6, gye yava okwegatta ku yunivasite e Makerere n’afuna diguli mu mateeka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});