Ssemaka agambibwa okubaako ky'amanyi ku kubula kw'abaana be akwatiddwa

Apr 03, 2025

Poliisi y’e Lwengo ekutte n’eggalira taata gwe twakulaze ku mawulire gaffe nga mukyala we n’abatuuze bamulumiriza okuba ng'alina ky'amanyi ku kubula kw'abaana be babiri abamaze omwezi mulamba nga tebalabikako.

By Florence Tumupende
Journalist @New Vision
Abalabi 1

Poliisi y’e Lwengo ekutte n’eggalira taata gwe twakulaze ku mawulire gaffe nga mukyala we n’abatuuze bamulumiriza okuba ng'alina ky'amanyi ku kubula kw'abaana be babiri abamaze omwezi mulamba nga tebalabikako.

Abaana Abaabula.

Abaana Abaabula.

Kato Yowane Batesta ow’emyaka 45, y’atemeza emabega w’emitayimbwa ng’okukwatibwa kiddiridde  poliisi y’e Lwengo okulaba amawulire gaffe nga maama n’abatuuze balumiriza taata w’abaana okuba nga y’amanyi abaana bano gye bali bw’etyo n’emukukunula mu kazigo kaabadde yapangisa mu bitundu by’e Busubi.

Yowana Batesta Kayiwa 10, ne muto we Elivis Mmale Elvis ow’emyaka  7 be batalabikako nga bano baabuzibwawo bwe baali bakomezeddwawo ewaka okuziika Jjajjabwe azaala nnyaabwe.

Amawulire ga ssemaka okukwatibwa poliisi gaasitudde maama w’abaana n’abatuuze okulaba oba ddala kituufu omusibe yakwattiddwa.

Kato Eyakwatiddwa.

Kato Eyakwatiddwa.

Olutuuse ku poliisi eno omuduumizi wa poliisi mu Lwengo  SP Asiimwe Richard abakakasizza nga omusibe bwe bamulina ekiwadde abatuuze obuvumu nti oba olyawo ke bamunywezezza n’abaana bandirabika.

Luyiga Fatuma nnyina w’abaana asabye abobuyinza okunyweza ensonga eno nti oba olyawo yandiddamu okulaba ku baana be.

Nnyina W'abaana Mu Maziga.

Nnyina W'abaana Mu Maziga.

Ye ssentebe w’ekyalo Busubi Nantongo Aisha  n’abatuuze be basiimye poliisi okukwata ssemaka ono era ne beebaza n’abaamawulire abaasobodde okusaasaanya amawulire gano okutuuka ku be kikwatako.

Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye agambye nti oluvannyuma lw’okulaba amawulire gaffe, baasazeewo bakwatte taata agambibwa nti ye yasemba okubeera n’abaana era n’asaba abatuuze okuba abakkakkamu okutuusa ng’ensonga eno erinnyiddwa ku nfeete.

Related Articles

No Comment