Eyasibwa emyaka 14 olw’okufa kwa Mowzey Radio akomyewo mu kkooti

Apr 04, 2025

KKOOTI ejulirwamu yaakuwa ensala yaayo mu kujulira okwateekebwamu kanyama eyatta omuyimbi Mowzey Radio eyafa mu 2018.  

NewVision Reporter
@NewVision

KKOOTI ejulirwamu yaakuwa ensala yaayo mu kujulira okwateekebwamu kanyama eyatta omuyimbi Mowzey Radio eyafa mu 2018.  

Radio Mowzey Bwe Yali Afaanana.

Radio Mowzey Bwe Yali Afaanana.

Godfrey Wamala, eyeeyita Troy yaddukira mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ekibonerezo eky’emyaka 14 ekyamuweebwa omulamuzi Jane Frances Abodo mu 2019 ng’agamba obujulizi obwaleetebwa oludda oluwaabi bwali tebukwatagana kyokka omulamuzi n’abusinziirako okumusingisa omusango gw’okutta omuntu mu butanwa.

Kkooti ejulirwamu yatudde eggulo kyokka munnamateeka Sylvia Namubiru awolereza Troy teyabaddewo era omuwaabi wa Gavumenti, Joseph Kyomuhendo n’ategeeza nti, baaweebwa ebiwandiiko byonna nabo ne bassaamu okwanukula omulundi ogwasooka ate baali awo ne bafuna ebiwandiiko ebirala era ne babyanukula, n’asaba kkooti eruηηamye ku kiddako.

 

Wabula Troy abadde agoberera ng’ayita ku ntimbe mu kkomera e Luzira yategeezezza kkooti nti, looya yamusuubizza okuddayo amulabe babeeko ensonga ze bongera okuttaanya naye teyamulabyeko ng’amusuubira ku Lwokuna, n’asaba kkooti ereme kukitwala nti, ali mu muzannyo kulwisaawo musango, wabula naye ekyaguddewo takirinaako buyinza.

Abalamuzi baamutegeezezza nti, bajja kwekenneenya ebyo bye yassaamu olwo bawe ensala yaabwe ekiseera kyonna okuva leero.

Mowzey Radio ng’amannya ag’obuzaale ye yali Moses Sekibogo yafa February 1, 2018, mu ddwaaliro lya Case Hospital gye yali addusiddwa okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’okulwanagana okwaliwo nga January 22, 2018 ku bbaala ya De Bar esangibwa e Ntebe.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});