Ssentebe wa District ye Nakaseke agobye abasomesa ab'ekibogwe mu district
Apr 05, 2025
SSENTEBE wa disitulikiti ye Nakaseke Ignatious Koomu Kiwanuka yerayiridde nga bwatagenda kutitiibya basomesa abekibogwe e Nakaseke ekiviriddeko abayizi okugwa ebigezo olw’obugayaavu bwa basomesa.

NewVision Reporter
@NewVision
SSENTEBE wa disitulikiti ye Nakaseke Ignatious Koomu Kiwanuka yerayiridde nga bwatagenda kutitiibya basomesa abekibogwe e Nakaseke ekiviriddeko abayizi okugwa ebigezo olw’obugayaavu bwa basomesa.
Bino Ssentebe Koomu abyogedderedde Kapeeka mu disitulikiti ye Nakaseke gyebamuyidde nga omugenyi omukulu mu nsisinkano gyabadde n’abasomesa mu masomero ag’obwananyini ku ssomero lya Standard High e Kapeeka mu disitulikiti ye Nakaseke nga omulamwa gwesisinkano eno kutumbula byagyigiliza mu distulikiti ye Nakaseke.
Koomu mukwogera kwe agambye nti ebyegyigilizza e Nakaseke bibadde bubi emabega ekyamuwalilizza okutwala abasomesa okubagezesa oba ddala ebintu byebasomesa abaana bakyabigyukira nga ekisinga okwewuunyisa abasomesa abamu babigwa kyokka mukifo ky’okwenenya ate basalawo kumutwala mu kooti mukaseera kano omusango gwali mukuwerenemba nagwo nga kino akiyise kumugya kumulamwa ekintu kyatagenda kukirizza nga wakugenda mu maaso n'okulongoosa ebyegyigiliza e Nakaseke.
Koomu yagaseeko nagamba nti yafunanga okwemulugunya eri abazadde nga abasomesa bwebatafaayo eri abaana baabwe kuba emirundi egyisinga amasomero agamu abasomesa baali tebatuuka ku masomero era natandika okukinonyerezaako era waliwo n’abasomesa abakangavulwa nga n’abamu baali batereeza era nga bakola bulungi era asinzidde wano nagamba nti ye tagenda kutya kugamba ku basomesa abakola obubi kuba era nabo bakimanye nti abazadde baabwe babasomesa era nebafuuka ensonga.
Related Articles
No Comment