Ebyatutte Museveni ekipayoppayo e South Sudan
Apr 06, 2025
PULEZIDENTI Museveni okugenda ekipayoppayo mu South Sudan kyongedde okuleeta essuubi ly’okukkakkanya obunkenke obuliyo n’okukola ku nsonga ezinyiga Bannayuganda abakolera n’okusuubulirayo.

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI Museveni okugenda ekipayoppayo mu South Sudan kyongedde okuleeta essuubi ly’okukkakkanya obunkenke obuliyo n’okukola ku nsonga ezinyiga Bannayuganda abakolera n’okusuubulirayo.
Wakati mu kwerinda okw’amaanyi, Museveni yatuuse e Juba ku bugenyi obw’oluwunguko ne yeevumba akafubo ne Pulezidenti Salva Kiir eyakutte omumyuka we Dr. Riek Machar n’amusibira awaka olw’obutakkaanya obwazzeemu wakati waabwe era kino kitadde South Sudan ku ndeboolebo y’okuddamu okuyiwa omusaayi!
Museveni we yasaliddewo okugenda mu South Sudan nga Kenya eyabadde etumye Munnabyabufuzi Raila Odinga akkakkanye embeera nga birabika bimuyinze n’avaayo ng’ogusima ebbumba!
Wabaddewo obweraliikirivu obw’amaanyi nti emmundu yandiddamu okuvuga wakati w’amagye g’eggwanga n’abalwanyi abakkiririza mu Riek Machar, ab’ekibiina kya Sudan People’s Liberation Movement-in-Opposition (SPLM-IO) n’obubinja obulala obuva mu ggwanga ly’aba Nuer, abalowooza nti Abadinka beefuze gavumenti bo ne babaleka emabega ate nga baalwana bonna okufuna obwetwaze mu 2011 okuva ku Sudan.
Machar ne Kiir bazze batabuka okuva 2011 bwe baafuna obwetwaze, era okulwanagana okwasembayo kwe kwavaamu endagaano ey’emirembe mu 2018, era Uganda y’emu ku nsi ezigoberera endagaano eno okulaba ng’eteekebwa mu nkola, okulwanagana kuleme kuddamu.
Abatunuulizi b’ensonga bagamba nti:
l Olw’okuba South Sudan eri ku muliraano ne Uganda, Pulezidenti Museveni kimukakatako okulaba nga wabaawo emirembe, kuba obutabanguko buyinza okusaasaana ne butwaliramu ne Uganda, n’okuwa omwagaanya abaagala okutabangula emirembe mu Uganda okufuna we beewogoma.
l Ensonda era zaalaze nti Pulezidenti Museveni yagenze e South Sudan okusobola okwetegereza embeera, n’okusengejja emirimu egikoleddwa amagye ga Uganda okuva lwe yagasindikayo okukuuma emirembe mu kikwekweto ekyatuumibwa ‘Operation Mlinzi wa Kimya’.
l Endagaano ey’emirembe eyakolebwa mu 2018 wakati wa Machar ne Kiir, nayo yeemu ku byateeseddwaako, okulaba engeri gy’eyinza okuddamu okugobererwa, emirembe giddemu okubukala mu ggwanga eryo.
l Uganda eganyulwa nnyo mu Sudan etebenkedde, naddala mu by’obusuubuzi. Okusinziira ku bibalo ebiri ku mukutu gwa Observatory of Economic Complexity (OEC), mu mwaka 2023, Uganda yatunda eby’amaguzi e South Sudan ebiweza obukadde bwa doola za America 536, nga mu za Uganda ziba 1,964,721,100,000/= (Obuwumbi 1,964, n’obukadde 721 mu emitwalo 10).
l Bannansi ba South Sudan bangi abajja mu Uganda okusoma ne bongera okuleeta ssente mu ggwanga, nga bino byonna singa South Sudan egwamu obutabanguko, Uganda eba eyolekedde okubifiirwa.
EKIBIINA EKIGATTA ENSI ZA AFRIKA KITUUSEEYO
Ekibiina ekigatta amawanga ga Africa ekya African Union, nakyo kyasindise dda akakiiko (Panel of the Wise) akagenda okuteeseganya n’enjuyi zombi okulaba nga tezirwanagana, n’okumalawo obunkenke obuliwo
No Comment