Abaaferebwa Capital Chicken kiki ekibalemesezza okufuna obwenkanya!
Apr 07, 2025
BANNAYUGANDA ababbibwa mu bizinensi ey’ekifere eyatandikibwawo okuyita mu kkampuni ya ‘Capital Chicken’, nabuli kati bakyakaaba, olwa ssente zaabwe ezisoba mu buwumbi butaano ezabbibwa, kyokka ne wabulawo avunaanibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAYUGANDA ababbibwa mu bizinensi ey’ekifere eyatandikibwawo okuyita mu kkampuni ya ‘Capital Chicken’, nabuli kati bakyakaaba, olwa ssente zaabwe ezisoba mu buwumbi butaano ezabbibwa, kyokka ne wabulawo avunaanibwa.
Abaali emabega w’obufere buno, baalimba Bannayuganda nti baleese bizinensi efuna ekiralu, ng’okugifunamu obatwalira ssente ne bakulundira enkoko, oluvannyuma n’ofuna amagoba go buli mwezi nga totuuyanye.
Kkampuni eno Bannannyini yo baagiwandiisa mu kitongole kya Uganda Registration Services Bureau, ne batandika okulanga ku buli leediyo ne ttivvi, ne bagenda ne mu masinzizo, ekyawaliriza abantu abawerako okubeegattako.
Ofiisi zaabwe zaali Kamwokya ku Kanjokya Street, ne ku kizimbe kya Nyumba Kubwa mu Kampala. Abamu ku Bannayuganda baafunayo ku magoba, ne basikiriza n’abalala okuyingira.
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kkampuni zonna eziri mu katale k’emigabo ekya Capital Markets Authority, kirina ssente ze kyakwatira ku akawunti, wabula nga ntono nnyo ku ezo ezaali zibbiddwa, era ne kiggulawo okunoonyereza ku nsonga eno, wabula n’okutuusa olwaleero abantu ababbibwa tebaweebwanga lipooti.
ENGERI OBUBBI BUNO GYE BWALUKIBWA
Dayirekita avunaanyizibwa ku kulondoola akatale k’emigabo mu Capital Markets Authority, Denis Kizito yagambye nti obubbi buno bugwa mu kiti kya ‘Ponzi Scheme’. Abaluka bizinensi zino batambulira ku nkola eya “Funa ssente okuva ku William, omale ofune endala okuva ku Jeremiah ozikozese osasule William, ate weewole endala okuva ku Patrick osasule Jeremiah”, nga weefudde nti oliko bizinensi efuna gy’obakolera, kumbe nga ozannyira mu ssente zaabwe.
Ekigambo ‘Ponzi’ kiva ku musajja eyayiiya obufere buno, nga nzaalwa y’e Italy, Charles Ponzi. Ono yabba obuwumbi obuyitirivu okuva ku bannansi ba America ne Canada mu myaka gya 1920, era obufere obw’ekika kino ne babumubbulamu n’okutuusa leero.
ENGERI GYE BASIKIRIZA ABANTU
Susan Nabankema, omu ku bantu abaafiirwa ssente mu Capital Chicken, yagambye nti abaali emabega w’obufere buno, baalina akalimi akasikiriza. Baalina engeri ssatu mw’osobola okusiga ssente.
1. Waliwo Bronze, nga wano omuntu yali asiga ssente okuva ku kakadde kamu paka ku bukadde bubiri n’emitwalo 99, ng’ofuna amagoba ga bitundu 12 ku 100 buli mwezi oluvannyuma lw’emyezi ena.
2. Aba ‘Silver’ ng’osiga obukadde busatu paka ku bukadde buna n’emitwalo 99, nga bafuna amagoba ga bitundu 15 ku 100 buli mwezi, oluvannyuma lw’emyezi ena.
3. Aba Gold baali basiga obukadde butaano paka ku bukadde mwenda n’emitwalo 99, nga nabo bafuna amagoba ga bitundu 15 ku 100 buli mwezi.
4. Aba Platinum bo baali basiga okutandikira ku bukadde 10 n’okudda waggulu ng’ofuna ebitundu 15 ku 100 eby’amagoba buli mwezi.
Nabankema agamba nti omu ku bantu abaali bakulira Capital Chicken era nga y’omu ku baali bategeka emisomo, Pius Wamanga, ebizibu olwajja tebaddangamu kumulabako. Wamanga yayambalanga ne yunifoomu ya UPDF, ne bongera okumwesiga.
Okuva October 2023, bawandiise ebbaluwa ez’enjawulo mu buli kitongole ekikwatibwako mu ggwanga, kyokka ne batayambibwa. Muno mulimu Palamenti, Ofiisi ya Pulezidenti, Kaliisoliiso wa gavumenti, amagye ga UPDF, akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti, n’awalala kyokka buli ofiisi ebiwulirako esirika busirisi.
David Miiro Mayamba omubuulizi w’enjiri mu Kampala, agamba nti aba Capital Chicken yabasanga ku kkanisa emu ey’amaanyi mu Ndeeba nga beeranga era kyamwanguyira okukkiriza okuteekayo ssente ze.
Yakebera ne mu kitongole ekiwandiisa bizinensi n’amakampuni ekya Uganda Registration Services Bureau n’asanga nga bizinensi mpandiise n’addamu amaanyi.
Yagendako ne Nyenje awaali ebiyumba by’enkoko nti kyokka yasangayo enkoko ntono okusinziira ku ze yali asuubira.
Bwe yagezaako okubuuza, nti bannannyini Capital Chicken baamuddamu nti enkoko zaabwe wadde ntono naye bazitunda ssente nnyingi. Bwe yawulira bino teyaddamu kubuuza n’ateekamu akakadde kamu.
Emyezi ena bwe gyaggwaako, yafuna amagoba ge, n’akakasa nti ekintu kya ddala n’ayongerayo obukadde busatu. Yasikiriza ne babuulizi banne ab’enjiri abeegattira mu kibiina kya Kisenyi Gospel Preachers SACCO ne bateekayo obukadde busatu. Baali bakyalinda magoba kkampuni n’eggalawo!
Margaret Namyalo, yalina ekirooto ky’okugula Poloti naye nga alina obukadde butaano. Yasalawo aziteeke mu Capital Chicken zizaale amagoba. Yalina okufuna obukadde munaana ku lufuna olusooka, naye tekyatuukirira kubanga yali yaakateekayo ssente ze, kkampuni n’eggalawo.
KW’OLABIRA BIZINENSI EY’EKIFERE
Denis Kizito owa Capital Markets Authority (CMA) yalabudde Bannayuganda obuteesiga muntu yenna ali mu katale k’emigabo, paka nga bakakasizza nti alina olukusa okuva mu CMA.
Obufere mu kisaawe ky’akatale k’emigabo bwa mirundi ebiri. Obusooka ye ‘Ponzi Scheme’ esuubiza abantu amagoba ag’ekiralu.
Endala ye ‘Pyramid Scheme’, we bakugambira nti okufunamu olina okuyingiza abantu abalala, nabo ne bayingiza abalala.
Kizito agamba nti tewaba bizinensi ekolebwa mu mbeera eno, wabula abantu babasasula ku ezo abapya abayingidde ze baleese.
POLIISI ENNYONNYODDE
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke yagambye nti Poliisi yakola okunoonyereza, era fayiro n’egikwasa aba Capital Markets Authority bongere okugitwala mu maaso, era mu kiseera kino abaafiirwa ssente mu bufere buno balina kutunuulira Capital Markets Authority.
Wetwakoledde emboozi eno, aba CMA baabadde tebannaba kutuddamu ku ngeri fayiro eno gy’ekwatiddwaamu.
No Comment