Owa bodaboda bamufeze
Apr 07, 2025
OMUVUZI wa Boda Boda bamufeze 500,000/- nga bamusuubizza okuyingira amagye ng’abamunyaze poliisi ebayigga.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUVUZI wa Boda Boda bamufeze 500,000/- nga bamusuubizza okuyingira amagye ng’abamunyaze poliisi ebayigga.
Yiga Mustafa 27 owe Wobulenzi Katikamu mu Disitulikiti y’e Luweero omuvuzi wa Boda Boda ku siteegi ye Lukomera ye yasuddewo omulimu gwe ogw’okuvuga booda nga bamusuubizza okumuyingiza amagye. Yakizudde luvannyuma nti bamufeze nga baamuwadde kaadi eriko Acosca Security.
Yiga yagambye nti aludde ng’ayagala kuyingira magye okutuusa mu January w’omwaka guno bwe yasisinkana Akim Ssewanonda eyamukwasaganya ne Steven Ssenyondo ne bamukakasa nga bwe bagenda okumuyingiza amagye ne bamusaba 500,000/- okumufunirako kaadi , yunifoomu n’engatto. Oluvannyuma baamututte ku ofiisi y’eggye ezzibizi ne bamulagira atandike okukola ng’eno gye yategeeredde nti kaadi gye baamuwadde yabadde njingirire. Moses Mutebi Konkomebi omu ku bakulira eggye ezzibizi (Reserve Force ) mu Kawempe yategeezezza nti Buyondo ne Ssewanonda basirikale ba ggye ezzibizi nga bavunaanibwa nga bbo kuba kye baakoze baakikoze mu bukyamu era ensonga baazikwasizza poliisi y’oku Kaleerwe ebanoonyerezzeko
No Comment