Omulambuzi gwe babbyeeko ebintu bye ne ddoola emitwalo 3 n'ekitundu poliisi emuzizzaayo e Iraq

Apr 08, 2025

Poliisi y’e kitongole ky’ensi yonna eya “Interpol” etandise okunoonyereza ku bantu abagambibwa nti baanyaze emitwalo gya ddoola za America 3 n’ekitundu ku munnansi wa Iraq abadde azze okulambula amawanga ga Africa.

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi y’ekitongole ky’ensi yonna eya “Interpol” etandise okunoonyereza ku bantu abagambibwa okunyaga emitwalo gya ddoola za America 3 n’ekitundu ku munnansi wa Iraq abadde azze okulambula amawanga ga Africa.

Okusinziira kw’akulira ekitongole kya Interpol wano mu Uganda,  AIGP Joseph Obwona, Taisir Faeg Yaqoob Yaqoob 35, azee gye bali ne yeekubira enduulu n’abagamba nti ayagala kudda mu ggwanga lye oluvanyuma ly’okumubbako ebintu bye ne ssente emitwalo 3 n’ekintundu eza ddoola.

Ssembatya Ng'akwasa Aigp Obwona  Paasipooti Gye Baakoledde Omulambuzi Taisir Asobole Okudda Ewaabwe.

Ssembatya Ng'akwasa Aigp Obwona Paasipooti Gye Baakoledde Omulambuzi Taisir Asobole Okudda Ewaabwe.

 Obwona agambye nti Taisir okujja ku kitebe kino abadde amaze ebbanga lya ssabbiiti ssatu ng’asula ku nguudo za Kampala nga n’ekyokulya abadde takirina nga bagenze okumulaba nga n’omukka asika musike olw’enjala.

Ono okumuyamba baasoose kumunoonyerezaako oba talina musango gwonna. Annyonnyodde nti poliisi yakwataganye n’ekitongole kya Make a Child Smile ekirwanirira eddembe ly’abaana ekikulemberwa Alex Ssembatya ne bamufunira paasipooti asobole okudda mu ggwanga lye.

Taisir abadde omusanyufu agambye nti embeera ebadde emuddugalidde okuva bwe baamubbako ebintu bye era yeebazizza poliisi okumufaako n’addizibwa ku butaka era nti y’agenda okukiikirira Uganda ewaabwe e Iraq olw’engeri gye baakuttemu ensonga ze.

Alex Sembatya owa Make a Child Smile yagambye nti Interpol baamusaba okubayambira Taisir naye kye yakola kuba emboozi ye yamukwatako nnyo n’asobola okufuna abantu ab’enjawulo ne bamuwa paasipooti addeyo mu Mirembe.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});