Kibuyaga atikkudde akasolya k'essomero

Apr 09, 2025

Nnamutikwa w’enkuba abaddemu omuzira ne kibuyaga agoyezza ebyalo 3 mu ggombolola y’e Namabasa n’atikkula amayumba g'abatuuze n’okusuula akasolya ka Watsemba Primary School.

NewVision Reporter
@NewVision

Nnamutikwa w’enkuba abaddemu omuzira ne kibuyaga agoyezza ebyalo 3 mu ggombolola y’e Namabasa n’atikkula amayumba g'abatuuze n’okusuula akasolya ka Watsemba Primary School.

Abayizi ku ssomero eryo yabalese tebalina we basomera, ebitabo by’abayizi n’eby’abasomesa ne byonooneka nga mu kiseera kino bali mu kyangaala.

Abamu Ku Basomesa N'abayizi Nga Basobeddwa.

Abamu Ku Basomesa N'abayizi Nga Basobeddwa.

Ennimiro zaasaanyeewo omuli ebitooke, muwogo n’amayumba agawera era abaayo
tebalina we beegeka luba.

Amyuka omukulu w’essomero lino, Ramadhan Salima agamba nti enkuba yatandise mpola kyokka baagenze okulaba ng’etandika okusuula omuzira olwo ne kibuyaga n’ayongerezaako n’atikkulako obusolya ku bibiina 5.

Waliwo n’abaana abaafunye ebisago olw’amayinja agaabakubye ssaako okwekoona ku ntebe. Ramadhan alaajanidde Gavumenti okubadduukirira kuba embeera mwe bali mbi ddala ate nga baabadde bagenda mu bibuuzo. Agamba nti essomero lirina abaana 1,226 ng’abaakoseddwa bali 500 n’okusoba.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});