Aba Taxi batongozza SACCO y'okukanika emmotoka zaabwe
Apr 10, 2025
ABAKULEMBEZE ba takisi abegattira mu kibiina kya UTOF batongoza SACCO 100, ba ddereeva ne bakondakita mwe banaayita nga okwewola ssente basobole okukanika mmotoka zaabwe n’okumala ebizibu eby’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKULEMBEZE ba takisi abegattira mu kibiina kya UTOF batongoza SACCO 100, ba ddereeva ne bakondakita mwe banaayita nga okwewola ssente basobole okukanika mmotoka zaabwe n’okumala ebizibu eby’enjawulo.
Ssentebe wa UTOF mu ggwanga Rashid Ssekindi yagambye nti mu kiseera kino mmotoka zaabwe ezisinga ziri mu mbeera mbi nnyo nga zetaaga kudabirizibwa ate nga banannyini zo tebalina ssente naye akakasa nti okutandikawo kwa SACCO zino kigenda kubayamba okufunangamu ku ssente ze banewoola ku magoba amatono ne basobola okudakibiriza takisi zaabwe.
Aba taxi nga balonda abakulembeze ba SACCO
Yayongeddeko nti balina galagi ze bamaze okukwatagaana nazo eziwera mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo ba ddereeva gye bagenda nga okutwala mmotoka zaabwe okuzinanika oluvannyuma ba nannyini galagi ezo baleetere SACCO zino “Invoice” eraga omuwendo gwa ssente ze bakanikidde mmotoka eno bo bamusasule olwo ye ddereeva asasule Sacco ku kibanja mpola.
Ssekindi yagambye nti enkola eno bwenatambula obulungi Banna- Kampala basubire okulaba nga takisi ezibadde ganyegeya zikendera mu ggwanga
No Comment