Abawanguzi ba Bukedde TV 15 bakwasiddwa ttivvi ze baawangula mu kivvulu kya Miss ne Mr Bukedde
Apr 10, 2025
ESSANYU lyabugaanye bannamukisa 15 abaawangula ttivvi eza fulaati inch 43 mu kivvulu kya Bukedde ekya Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna bwe zaabadde zibakwasibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
ESSANYU lyabugaanye bannamukisa 15 abaawangula ttivvi eza fulaati inch 43 mu kivvulu kya Bukedde ekya Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna bwe zaabadde zibakwasibwa.
Ekivvulu kyaliwo nga January 24, ku Theater Labonita ku ntikko y’ebijaguzo bya Bukedde TV eby’emyaka 15 ng’eri ku mpewo eweereza.
Enteekateeka y’okubakwasa ttivvi zino yabadde ku kitebe kya Vision Group nga zaabakwasiddwa abaawangula empaka za Miss ne Mr Bukedde okwabaddem Brian Mukasa Ssebbanja (Mr Bukedde), n’abaali mu kyokubiri okul; Samantha Namubiru ne
Nuwaha Elisam.
Abawanguzi wakati mu kubakwasa TV zaabwe obwedda bazina amazina, okukuba buluulu nga basiima Bukedde olw’okubeera n’amazima n’okubaweereza ebintu ebiri ku mutindo.
Abawanguzi b’empaka zino nabo baabadde bakyali mu kujaganya nga bakyawunya effuta ly’ennyonyi okuva e Dubai gye baabadde nga balambula. Abawanguzi abana
okuli Mr Bukedde (Brian Ssebanja), Miss Bukedde (Laticia Nalwoga) abakwata ekyokubiri okuli Nuwaha Elisam ne Samantha Namubiru baatwalibwa e Dubai abamu ku baali abavujjirizi b’empaka za Miss ne Mr Bukedde sizoni eyookuna linnya ebbaati ne Al Hassan Tours and Travel. Ssaalongo Richard Kayiira, maneja wa Bukedde TV1,
yayozaayozezza abawanguzi era n’akunga abalala okwettaniranga enkola
za Bukedde zonna kubanga ekyaleeta bingi.
No Comment