Abasoddookisi bavumiridde omulugube ogususse mu bantu
Apr 13, 2025
Bwe yabadde akulembeddemu okusaba kw’okunyeenya amatabi mu Eklesia ya St Nicholas e Namungoona, amyuka Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr Stelios Kasule yagambye nti abantu bangi balidde ssente y’ekibi olw’okuba balina bye baagala okufuna

NewVision Reporter
@NewVision
AB’ENZIKIRIZA y’Abasoddookisi mu ggwanga bavumiridde omulugube ogususse mu bantu né batuuka okuKkiriza ssente ey’ekibi ne bafaanana nga Yuda Iscariot eyalya mu Yesu olukwe.
Bwe yabadde akulembeddemu okusaba kw’okunyeenya amatabi mu Eklesia ya St Nicholas e Namungoona, amyuka Bwanamukulu w’ekigo kino, Fr Stelios Kasule yagambye nti abantu bangi balidde ssente y’ekibi olw’okuba balina bye baagala okufuna mu babasuubizza ssente okuva mw’abo ababalina kye babasabye okubakolera.
Yagambye nti era waliwo amawulire agaawuliddwa mu Palamenti nti waliwo ababaka abafunye obukadde 100 okusobola okuwagira ekiteeso ky’okuzzaawo kkooti y’amagye ekintu kye baakoze ku lwabwe nga abantu kuba ssente ze baafunye tezigenda kuyamba bantu ba bulijjo.
Yasabye abantu abalina obuyinza okubukozesa obulungi baleme kunyigiriza abalala kuba tebabaagala nga okukwatagana obulungi bakkiriza gwe bataagala abayiteko balinde owaabwe okusinga okumukuba nga bwe byalabibwa mu kulonda kwa Kawempe North.
No Comment