Bannamwandu ba Hajj Katongole balwanira mmaali

Apr 15, 2025

OKULWANIRA emmaali  y'omugenzi Hajj Moses Katongole yali owa UTODA kusitudde buto mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.

NewVision Reporter
@NewVision

OKULWANIRA emmaali  y'omugenzi Hajj Moses Katongole yali owa UTODA kusitudde buto mu bannamwandu, abaana n'abooluganda.
Hajati Muto atuuse n'okubuuza muggya we nnamba emu ne mulamu we boogere kye yabalyako waakiri aneewola abasasule. Hajati mukulu Sanny Kaddu Katongole, ennyumba y'omu kyalo eyalekebwa mu ddaame nga we wakung'aanirwa bamulekwa ne bannamwandu agiwambye n'agisiba n’awa ekiragiro nti wali alina kulinnyayo okuggyako abaana be yeezaalira.
Hajati Muto (Aisha Namubiru Katongole), olunwe alusonze mu mulamu we era omu ku bakuza, Hajj Muhamood Katongole manyiddwa nga ‘Hajj Kaato’ nti ye yeekobaanye ne nnamwandu omukulu (Hajati Sanny Kaddu kulemesa bamulekwa abalala ne bannyaabwe era tebabaganya kukozesa mu migabo gyabwe.
Hajat Aisha, omusasi wa Bukedde gwe yasanze atudde wansi w'omuti, yagambye nti
emmaali ya Hajj Katongole yagabanyizibwa mu mateekag’Obusiraamu emyaka esatu
egiyise wabula buli lwe bagezaako okugenda bakozese omugabo gwabwe ng’omukuza ne Hajat Sanny nga babawendulira poliisi ng'ebakwata n'okuwamba
ebikozesebwa.
Hajat Aisha agambye nti omukuza ne nnamwandu omukulu baalimba ofiisi ya RDC e
Kayunga ne poliisi nti emmaali tegabanyizibwanga sso nga kino kyakolebwa dda bamaseeka abakulu okuva e Kibuli.
Yalaze omusasi ono empapula n’ekibangirizi kye yagabana n'abaana be ekya yiika 81
kw’ezo yiika 594 eziri ku ttaka Hajji Katongole lye yaleka ku
kyalo Lwabyata.
Yawanjagidde Pulezidenti Museveni nti omugenzi yali munne nnyo wabula bamulekwa be tebali bulungi. Ebintu ebikyaliko kalumannywera kuliko ffaamu ya mayiro emu e Lwabyata n'eya mayiro bbiri e Tundiyani mu Bugerere.
Ssentebe wa LCI, Tukula Buruhan ayogedde ku mbeera y'abaserikale
abeeserejja ku kyalo olw'enkaayana eziri mu famire y'omugenzi Katongole nga ziva ku ngabana y'ebyobugagga era baleeseewo n'okutya mu batuuze.
Bukedde bwe yayogeddeko ne Hajat Sanny ku ssimu n'agamba nti ekyamuggaza  ennyumba ng’ayagala erongoosebwe kuba yali efuuse kifulukwa. Ate Hajj Muhamood Katongole muto w'omugenzi era omu ku bakuza naye ku ssimu yagambye nti ebintu byagabanibwa era tamanyi ntalo kwe ziva.
RDC w'e Kayunga, Mariam Nalubega Sseguya yagambye nti yafuna okwemulugunya okuva ewa nnamwandu omukulu era kwe yavudde okulagira DPC aweerezeeyo abaserikale okuziyiza obukuubagano mu ba famire obuyinza okuvaamu okuyiwa
omusaayi. Nalubega awadde amagezi nti aba famire beggyemu okweyagaliza buli
omu atebenkere n’omugabo gwe kuba obukakafu bulaga nti baagabana mu kifo ky'okubuzaabuza ofiisi za Gavumenti.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});