Awakanya Ssekindi akulira ttakisi bamukunyizza mu kakiiko

Apr 15, 2025

AKULIRA akabinja akeewaggudde ku kibiina ky’aba ttakisi ekya UTOF bamusimbye mu kakiiko akakwasisa empisa ne bamukunya.

NewVision Reporter
@NewVision

AKULIRA akabinja akeewaggudde ku kibiina ky’aba ttakisi ekya UTOF bamusimbye mu kakiiko akakwasisa empisa ne bamukunya.

Sadat Kalyango Ssemwanje abadde akulira abavubuka ku lukiiko olufuzi 0lwa UTOF yasimbiddwa mu kakiiko k’empiisa akakulirwa Sowedi Ssendagire n’avunaanibwa emisango esatu okuli okuvvoola ssentebe wa UTOF, okwogera kalebule ku ssemateeka wa UTOF gattako okuyita olukung’aana lwa bannamawulire n’ayogera by’atalina kwogera ku kibiina nga tafunye lukusa.

Kalyango Mu Kakiiko Akakwasisa Empisa.

Kalyango Mu Kakiiko Akakwasisa Empisa.

Bino biddiridde okutuuza olukung’aana lwa bannamwulire mwe yalumbira Ssekindi nti emirimu gimulemye, gattako n’okweremeza mu buyinza n’amuwa amagezi alekulire.

Ssemwanje bwe baamusomedde emisango n’akkiriza nti agiwulidde bulungi kyokka ate ng’agamba kimu nti awakanya ssemateeka waabwe abafuga gw’alumiriza nti akyali mu bbago kyokka yawandiisibwa dda ekibiina ekivunaayizibwa okuwandiisa ebitongole ne kkampuni mu ggwanga ekya URSB nga November 27 2024 nga ssemateeka ajjudde.

Kino kyatabudde ssentebe n’asalawo okuwa Ssemwanje akadde addeyo alowooze ku bimuvunaanibwa oluvannyuma bajja kumuwandiikira bamutegeeze olunaku olulala lw’anaakomawo mu kakiiko k’empiisa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});