Oluguudo olubomose e Buyala lusannyalazza ebyentamula ku lw'e Mityana

Apr 16, 2025

EBYENTAMBULA bisanyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala e Buyala okumpi n’omugga Mayanja, ekitundu ky’oluguudo bwe kibomose ne kigwamu.

NewVision Reporter
@NewVision

EBYENTAMBULA bisanyaladde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Kampala e Buyala okumpi n’omugga Mayanja, ekitundu ky’oluguudo bwe kibomose ne kigwamu.

Mu kiseera kino emmotoka tezikyasobola kuyisinganya mu kifo kino ekivuddeko akalippagano wabula obuzibu abatuuze babutadde ku minisitule ye by’entambula gye bagamba nti baagitegeeza dda ku buzibu buno nga bayita mu bakulembeze baabwe n’etafaayo.

Ekitundu ku luguudo ekyabomose

Ekitundu ku luguudo ekyabomose

Haruna Kasango omutuuze w’e Buyala-Kito yategeezezza nti ekizibu kino kimaze omwezi gumu mulamba kyokka kizze kigaziwa buli enkuba lw’etonnya ssaako n’oluguudo okweyasaamu.

Kasango agamba nti ku Lwokubiri akawungeezi oluguudo lwayongedde okubomoka ekyabawalirizza okwongera okusuula emisanvu n’okusiba obuguwa n’obuwero obumyufu okulabula ab’ebidduka baleme kuggwa mu kinnya kyokka bwagenze okukya ku Lwokusatu ng’oluguudo lweyongedde okubomoka.

Poliisi y'ebidduka ng'etaddewo obupande obulaga obuzibu obuli ku luguudo.

Poliisi y'ebidduka ng'etaddewo obupande obulaga obuzibu obuli ku luguudo.

Ssentebe w’ekyalo kino, Musa Ssemakula ne ssentebe w’eggombola y’e Muduuma Musa Kakembo bagamba nti baawandiikira ekitongole ky’ebyenguudo ng’ekizibu kino kya katandika kyokka ne batalaga kufaayo nnyo ng’ekizibu kize kikula olw’enkuba ennyingi etonnya ennaku zino n’obuzito bwa mmotoka ezikozesa oluguudo luno naddala eza kasasiro.

Abatuuze n’abakulembeze mu kitundu kino kati baagala minisitule ye by’etmbula okusooka okuggala oluguudo luno era lukolebwe mu bwangu okusobola okutaasa obulamu bw’abantu n’obubenje obuyinza okuva ku mbeera eno.

Oludda olwabomose ku kkubo.

Oludda olwabomose ku kkubo.

Eggulo (Lwakusatu) abakungu ba minisitule y’ebyenguudo nga bakulembeddwa Ying.Julius Musinguzi baalabiddwako nga beetegereza embeera mu kifo kino era ng’ono yategeezezza nti bagenda kusitukiramu okutereeza embeera eno.

Ying.Musinguzi yalagidde abantu abatundira endokwa mu kitundu kino okukyamuka kubanga bano balemesa amazzi okutambula obulungi ekigaviirako okukosa oluguudo.

Omwogezi wa minisitule ye by’entambula Susan Kataike yategeezezza nti kituufu oluguudo luno lumaze ebbanga nga lubomose era nga bakimanyi nga mu kiseera kino bamaze okufuna kontulakita agenda okuluddaabiriza okutandika wiiki ejja.

Yagambye nti bayinginiya baabwe bamaeze okwekebejja oluguudo luno ne bakizula nti ebidduka bikyasobola okukozesa oludda olukyali olulamu kyokka singa banaakizula nti nalwo lunafunye baakulugala nga bakolagana ne poliisi y’ebidduka.

Oluguudo luno lukozesebwa abantu abagenda mu disitulikiti okuli Kampala, Mityana, Mubende , Kassanda, Fortportal, Kyenjojo, Kakumiro, Kasese n’endala

Mu kiseera kino omuntu adda ku luguudo lw’e Masaka asobola okukozesa oluguudo lwa Bujjuuko -Katende ate adda ku lw’e Hoima asobola okukozesa Bujjuuko-Kakiri.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});