8 baagala kukiikirira Nansana Municipality

Apr 16, 2025

EBBUGUMU ly’ebyobufuzi buli olukya lyeyongera mu Munisipaali y’e Nansanaolw’abeesowoddeyo okuggya omubaka Wakayima Musoke ku kifo ky’omubaka.

NewVision Reporter
@NewVision

EBBUGUMU ly’ebyobufuzi buli olukya lyeyongera mu Munisipaali y’e Nansana
olw’abeesowoddeyo okuggya omubaka Wakayima Musoke ku kifo ky’omubaka.
Munisipaali eno y’esinga abalonzi mu ggwanga ng’ekolebwa Divizoni nnya okuli Gombe, Busukuma, Nansana ne Nabweru.
Erimu abantu 683,716 wabula ng’abatuuze bakyasoomoozebwa n’obuwereeza bwe bagamba nti bwa kibogwe omuli; enguudo embi, kasasiro amansibwa, ebyobulamu ebitasanyusa, n’ebirala.
Abantu abawerako bazze beesowolawo ne balaga obwetaavu bw’okukiika mu Palamenti nga buli omu alaga nti ye mutuufu okutuusa eddoboozi ly’omuntu wa wansi. Abaagala ekifo kino kuliko;
1. John Bosco Sserunkuuma ‘Kaana ka mbaata’; Ye kkansala wa Nansana West Ward era
yeegwanyiza kaadi ya NUP avuganye ku bubaka bw’ekifo kino.
Ono agamba nti obukulembeze obuliwo tebumatiza naddala bwe kituuka mu kulwanirira omuntu wa wansi n’anokolayo ebikwekweto bya NEMA mu Lubigi
abatuuze mwe basendeddwa.
2. Wakayima Musoke; Ye mubaka aliko kati era nga wa NUP eyeesunga okuddamu
okubakiikirira mu 2026.
Wakayima azze ayogera ngabw’ali omu ku babaka abayimiridde n’abantu ba wansi nga y’omu ku baawakanya okuyisa etteeka ly’emmwaanyi. Alwaniriidde obwenkanya n’entambuza y’amateeka mu bantu. 3. Ying. Stephen Kaweesa; Ye ssentebe wa Katooke nga yavuganya ne mu kulonda kwa 2021. Yatandika dda okutimba
ebipande mu Nansana abatuuze bamwesige. Yeeyita komanda wa NUP era agamba nti ye mutuufu outuusa eddoboozi ly’abatuuze.
Ayagala kukola ku nguudo, ebyobulamu by’agamba nti omubaka aliko tabifuddeeko!
4. Ibrahim Mayanja ‘Big Eye’; Ono muyimbi era nga mutuuze w’e Kazo. Yatandika dda
okukunga abatuuze okumuyiira obululu era akozesa nnyo emikutu gye okuyigga akalulu ku kaadi ya NUP. Big Eye agambanti abatuuze tebafunye kimala kwe kusalawo aveeyo atuuse eddoboozi lyabwe mu Palamenti.
5. Ronald Sawurembo; Mutuuze w’e Nabweru era nga muvuzi wa bodaboda mu Nansana nga y’omu ku bakubi b’amasimu ku TV n’emikutu gya leediyo. Y’omu
ku baatandika edda okuyita mu batuuze nga basaba okumwesiga.
Agamba nti waakutambulira mu buwufu bw’omugenzi Ssegirinya era nti waakukulembeza ddoboozi ly’abatuuze. Ayagala kutereeza byabulamu, ebyenjigiriza
n’okusitula eddoboozi ly’abatuuze b’e Nansana. Munnakibiina
kya NUP era awera nti lye ddoboozi ettuufu.
6. A hiraf Zziwa; Musuubuzi era musibi wa nviiri mu katale ka Nansana Daily Market nga y’omu ku baatandika okuyita mu basuubuzi ssaako bakasitoma amuwe akalulu nga omubaka waabwe mu Palamenti. Wa NUP era agamba nti waakufuba
okukyusa endowooza y’abatuuze obutanyooma miriimu afube n’okubasakira.
7. William Ssekatwe; Ono ye ssentebe w’omuluka gwa Wamala mu Nansana era nga munnabyanfuna nga y’omu ku beesowoddeyo okukwatira NRM bendera
ku bubaka bwa Palamenti abatuuze bafune okwesiima.
Ssekatwe agamba nti ebyobufuzi mu Nansana bidobonkanye nga byetaaga munnabyanfuna asakira abatuuze n’okutuusa eddoboozi. 8. Zambaali Bulasio Mukasa; Ono munnamawulire era omutuuze w’e Nansana. Y’omu ku beesunga okukiikirira ekitundu kino ng’agamba nti akooye okulaba ekitundu kye nga kiyagga. Zambaali agamba nti ki kye kiseera okukoma okwogera obwogezi ku biruma abatuuze,
eddoboozi ayagala alituuse mu Palamenti. Agamba nti waakujjira
ku kaadi ya NUP era awera nti yekka y’alina ‘ground’ ematiza
ng’essira waakulissa ku bbula ly’emirimu ssaako okusakira abatuuze.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});