Bp. Banja yeekokodde ekibbattaka nga twolekera Paasika
Apr 18, 2025
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja yeekokkodde olw'ebikolwa eby'ekibbattaka, ekiwambabantu n'obulyake mu bitongole bya Gavumenti, n'asaba Kristo akyuse abakola bino mu kiseera kino eky'Amazuukira ge.

NewVision Reporter
@NewVision
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja yeekokkodde olw'ebikolwa eby'ekibbattaka, ekiwambabantu n'obulyake mu bitongole bya Gavumenti, n'asaba Kristo akyuse abakola bino mu kiseera kino eky'Amazuukira ge.
Bino Bp Banja yabyogedde eggulo ku Lwokuna mu lukung'aana lwa bannamawulire, bwe yabadde awa obubaka bwa Paasika mu lutikko y'Omutukuvu Paulo e Namirembe.
Bp Banja olw'avudde ku ntanda ey'omu Bayibuli bw'ati, yatandikidde ku nguzi gye yagambye nti mu Uganda ya leero egenda erya buli wamu ng'omuliro gw'oluyiira bwe guwoomerwa omuddo gw'ekyeya.
Yagambye nti abagaba enguzi n'abagiweebwa tebakyalina ntiisa na nsonyi nga kiringa ekintu ekya bulijjo so nga Katonda tagikkiriza.
Ku kibbattaka, Banja yeewuunyizza enkola y'obubbi eriwo, ng'oli ava eri n'ekyapa ekipya ku ttaka n'akulaga nti ekikyo ggwe aluddewo kye kifu era n'akusenda.
Yagambye nti enkola eno enyigiriza abanafu, abakadde n'abateesobola esaanye ekomezebwe aboobuyinza kubanga kino kibi ekinnyikidde mu bantu abatulugunya abannaabwe.
"Olaba tebakyatya na ttaka lya masinzizo! Tulabye abatwala ettaka ly'Ekkanisa, ery'Eklezia ssaako ery'Emizikiti era neewuunya nti abantu tebakyalina ntiisa ku masinzizo! Era ennaku zino abantu batwala n'ebya Katonda awatali kutya, ne beerabira nti ebikolwa ebiringa ebyo Katonda abikyawa." Bbanja bwe yeewuunyizza.
Asabye n'abakola ebibi nga: ettemu, obubbi n'obuliisamaanyi nti babikomye kubanga enkomerero eri kumpi n'ababuuza nti Katonda balimunnyonnyola batya ku bye bakola. N'awa ekyokulabirako ky'abantu ba bulijjo abaalumbye omuserikale ne bamutta e Ibanda, nti obwekalakaasi obw'engeri eno si bwa nsigo ya Bwakatonda.
Yeebuuzizza lwaki enkola ey'okuwamba abantu efuuse ng'eya bulijjo oluusi ne basibwa ate olulala ne babuzibwawo obutaddamu kulabika, n'akinogaanya nti kino kityoboola eddembe ly'obuntu era kisaana kikome.
Yazzeemu n'okukolokota ekiteeso ekya Gavumenti okwagala okutandika okusolooza ebisale by'essomero ng'eyita mu URA, n'agamba nti kino kikafuuwe mu masomero ag'Ekkanisa agayambibwako Gavumenti, n'agamba nti kino tebajja kukikkiriza.
Obubaka bwe yabutadde wansi w'omutwe ogugamba nti 'Okutegeera amaanyi g'Okuzuukira kwa Yesu Kristo' ng'agusimbulizi mu Bbaluwa Paulo omutume gye yawandiikira Abafiripi (3:7-11), n'alangirira n'Ekkubo ly'Omusaalaba eryatambuziddwa ku Lwokutaano okutandika ku ssaawa 2:00 ez'oku makya.
No Comment