Obubaka bwa Kabaka obwamazuukulira
Apr 19, 2025
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti Obwakabaka bulyazamanyiziddwa nnyo ku bintu byaabwo gavumenti byezze esuubiza okukolako kyokka ebbanga liweze ddene nga tebinatuukirizibwa.

NewVision Reporter
@NewVision
KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agambye nti Obwakabaka bulyazamanyiziddwa nnyo ku bintu byabwo gavumenti byezze esuubiza okukolako kyokka ebbanga liweze ddene nga tebinatuukirizibwa.
Kabaka agamba nti ebintu bino bingi byakkanyizibwako n’abobuyinza era bazze babijjukiza gavumenti entakera.
“Kino tukikola nga tumanyi nti, Uganda nsi yaffe ffenna kyokka, tugirinako omugabo ng’Obwakabaka. Obwo bwe bukulembeze bwe tuyaayanira mu nkulakulana ya Uganda,”Kabaka bwayogedde.
Bino biri mu bubaka bwe eri Bannayuganda abakikkiririza mu Yesu obw’amazuukira g’Omwaka guno nga bufulumiziddwa enkya ya leero.
Obwakabaka bubanja ensimbi ezisukka obuwumbi 500 nga zino ziri mu busuulu bw’ebizimbe,gavumenti eyawakati byepangisa okumala emyaka egisukka 30 kati.
Ensonga eno ku lwokuna yatuuse mu Palamenti nga yaleteddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti,Joel Ssenyonyi n’asaba ebbanja ly’Obwakabaka nti lyalitandise okusasulwako,Obuganda omutima gubukakkane.
Kyokka Ssabawolereza wa gavumenti ya Uganda, Kiryowa Kiwanuka mu kwanukula ku nsonga eno yategeeza nga bweyabadde teyetaagisa kuleetebwa wano kubanga ensonga ezo azimanyi bulungi era bingi ebikoleddwa mu nteekateeka eno.
Mu bubaka buno Kabaka era yeebazizza abantu be olw’okujjumbira okulima emmwaanyi n’agamba nti lino ly’erimu ku makkubo agagenda okubayamba okukulakulana nga beegya mu bwavu.
Amazuukira ga Yesu Kristo gagenda kukwatibwa olunaku lw’enkya nga y’enkomerero y’ekisiibo ekikulungudde ennaku 40,Abakulisitaayo kyebayiseemu era Kabaka abaagaliza okujjaguza okw’essanyu n’emirembe.
OBUBAKA BWA KABAKA MU BUJJUVU:
Tubakulisa okuyita mu kiseera eky’okusiiba n’okwegayirira. Ekiseera kino,kitunyweza mu kukkiriza, okwagalana n’okuba n’essuubi mu bulamu bwaffe. Kitubikkulira obuwereeza obw’amazima obujjudde obwenkanya,emirembe n’obuteegulumiza.
Bulijjo okusoomoozebwa okututuukako,tuddukira eri abakulembeze baffe batereeze ebiba bisobye. Kyenva mbasaba mu kiseera nga kino,okujjukiza abakulembeze baffe abalonde nti,ffe twabatuma okutuwereeza n’okutuukiriza ebitukwatako mu bitundu gye tuva. Tunakuwala okulaba ng’abantu baffe bafiira mu mukoka ayanjaala mu kibuga ekikulu Kampala,buli nkuba lwetonya. Wateekwa okubaawo ekikolebwa ku nsonga eno.
Ffe nga Obwakabaka tulaba okulyazamanyizibwa ku bisuubizo ebitanatuukirira. Ebimu nga twabikkanyaako ate nga tubijjukiza abakulembeze baffe entakera. Kino tukikola nga tumanyi nti, Uganda nsi yaffe ffenna kyokka, tugirinako omugabo ng’Obwakabaka. Obwo bwe bukulembeze bwe tuyaayanira mu nkulakulana ya Uganda.
Twebaza abantu baffe abongedde amaanyi mu kulima emmwaanyi. Lino lye limu ku makkubo aganaatusobozesa okweyimirizaawo n’okweggya mu bwavu. Tubakubiriza okukuuma omutindo mu kunoga,okwanika n’okusunsula emmwaanyi. Kye tusaba gavumenti ku nsonga y’emmwaanyi, kwe kukuuma bbeeyi y’emmwaanyi ku miwendo egiganyula omulimi n’okuwagira abantu ba ssekinoomu n’abali mu bwegassi okuzimba amasunsuliro g’emmwaanyi mu bitundu gyezirimibwa. Omulimi oba omusuubuzi aleme kufiirwa nsimbi ng’atambuza emmwaanyi mu bitundu ebyewala.
Tubaagaliza amazuukira ag’essanyu n’emirembe. Tubajjukiza nti,lwoya lwa mu nnyindo olwejja wekka. Tukole, twenyigiremu by’obukulembeze era tuleme kusirikira nsonga ezitukwatako ng’eggwanga. Tuleme tuwubisibwa ku nsonga yonna ekwata ku Bwakabaka.
Omukama abakuume.
Ronald Muwenda Mutebi I
No Comment