Nalukoola ayungudde kkampuni za bannamateeka okumutaasa ku Nambi
Apr 19, 2025
OMUBAKA wa Kawempe North, Elia Luyimbaazi Nalukoola ayungudde ttiimu ya bannamatteeka abagundiivu okuva mu Kkampuni 9 okumuwolereza mu musango ogwamuwaabiddwa Faridah Nambi owa NRM, ng’ayagala obuwanguzi bwe busazibwemu.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUBAKA wa Kawempe North, Elia Luyimbaazi Nalukoola ayungudde ttiimu ya bannamatteeka abagundiivu okuva mu Kkampuni 9 okumuwolereza mu musango ogwamuwaabiddwa Faridah Nambi owa NRM, ng’ayagala obuwanguzi bwe busazibwemu.
Ttiimu ya Nalukoola egenda kkulirwa munnamateeka Muhammad Mbabazi okuva
mu kkampuni ya Nyanzi, Kiboneka & Mbabazi Advocates, ng’erimu kkampuni
za bannamatteeka endala 8 omuli Bannamateeka abatawunyikamu.
Kuliko Caleb Alaka owa Alaka & Co. Advocates, minisita w’ebyamateeka mu bwa Kyabazinga Alex Luganda, munnamatteeka wa NUP George Musisi, Jude Mbabaali, ne bannamatteeka abalala.
Nambi yatwala Nalukoola n’akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti ng’abavunaana okukumpanya obuwanguzi bwe, oluvannyuma lw’akakiiko okulangirira Nalukoola ku buwanguzi bw’ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu kulonda okwaliyo nga March 13, 2024.
Nambi mu mpaaba ye agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaalemwa okukomyawo n’okubala ebyava mu kulonda ku bifo 14 ebironderwamu nga tebaafuna byavaayo kyokka ne kalangirira Nalukoola nti y’asinze. Era avunaana ne Nalukoola nti yakuba kampeyini ku lunaku lw’okulonda, ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka. Ye Nalukoola yagambye nti Nambi naye akimanyi nti mu kalulu ak’amazima n’obwenkanya tasobola kuwangula Kawempe, kyava asalawo okumubonyaabonya n’okumumalira obudde,
aleme kukiikirira bantu ba Kawempe North nga ateredde bulungi mu palamenti.
No Comment