Aba Caritas-Hoima baleese eddagala ly’obutonde eritta ebiwuka ku bisolo

Apr 21, 2025

OBUVUNAANYIZIBWA bwa Bannayuganda okulya emmere ennamu tebukoma kw’eyo ennime yokka wabula butuuka ne kw’ebyo ebirundibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

OBUVUNAANYIZIBWA bwa Bannayuganda okulya emmere ennamu tebukoma kw’eyo ennime yokka wabula butuuka ne kw’ebyo ebirundibwa.
Abalunzi buli lwe bakozesa eddagala eritali ddungi mu bisolo oba mu binyonyi bye balunda, liyingira mu nnyama olwo omuntu bw’agirya n’afuna okusoomoozebwa mu bulamu oluusi ekivaamu obulwadde. Okusobola okumalawo ekizibu kino, Anthony Mugarra ow’e Rusaka - Kisuula mu ggombolola  y’e Bwikala mu disitulikiti y’e
Kagadi, ng’ali n’aba Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture (ACSA) wamu ne
Caritas-Hoima, yakola eddagala ery’obutonde eriyitibwa ‘Tephrox  Acaricide’. Lifuuyirwa ebisolo era teriraba mu nkwa n’ebiwuka ebirala ebitawaanya ebisolo
n’ebinyonyi.
Mugarra agamba nti: Okwawukanako n’eddagala abalunzi lye bakozesa nga tebamanyi bye likolebwamu, lino okusinga liva mu kirime ekya muluku ekitabulwamu ebirungo ebirala eby’obutonde.
AMAANYI TUGATADDE MU KWONGERA MUTINDO KU DDAGALA  LYAFFE ERIFUUYIRA EBISOLO
Mugarra annyonnyola nti: Okuva edda ng’abalunzi beeyambisa muluku okufuuyira ebisolo byabwe omuli ente, embuzi, endiga n’ebirala era ng’atta ebiwuka ate nga tayonoonye butonde bwa nsi. Kye tukoze kwe kwongera omutindo ku ddagala lino nga
tulikamula ne tuliteeka mu macupa ag’omulembe lituuke ku balunzi bonna abalyetaaga mu Christine Katusiime, mu kisibo ky’embuzi ze z’afuuyirako ‘Tephrox Acaricide’.
ggwanga nga ddungi.
Bw’ofuuyira ebisolo byo n’eddagala lino, osobola okumala ebbanga erisukka mu wiiki
bbiri nga tozzeemu kufuuyira kyokka ng’ensolo zo tezizzeemu kulumbibwa biwuka.
Kyokka bw’oba ofuuyira, kakasa nga buli kitundu kya kisolo gamba nga mu matu, mu
mabeere n’awalala lituukawo. Abalunzi abamu bakola ensobi nga bafuuyira ebisolo byabwe eddagala ne litatuuka mu bifo byonna olwo ebiwuka ng’enkwa ne bisigala nga tebifudde. Eddagala lino ligoba n’ebiwuka ebirumba abalunzi b’enkoko gamba ng’obuloolo. Enkoko zo bwe zirumbibwa obuloolo, funa eddagala lino oliteeke mu bbomba ofuuyire mu kiyumba bujja kufa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});