Abagagga n’abakulembeze bawagidde pulaani ya Ham ku myala mu Kampala
Apr 23, 2025
NGA KCCA egenda mu maaso n’okwetegereza pulaani y’omugagga Hamis Kigunduokukulaakulanya omwala gwa Nakivubo omunene, abamu ku Bannakampala omuli abagagga, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’abatuuze ab’enjawulo bawagidde ekiteeso ky’okubikka emyala nti, kigenda kuyam

NewVision Reporter
@NewVision
NGA KCCA egenda mu maaso n’okwetegereza pulaani y’omugagga Hamis Kigundu
okukulaakulanya omwala gwa Nakivubo omunene, abamu ku Bannakampala omuli abagagga, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo n’abatuuze ab’enjawulo bawagidde ekiteeso ky’okubikka emyala nti, kigenda kuyamba okumalawo ababbi ababadde bagyekwekamu n’obucaafu mu kibuga.
Bawadde ensonga nti, omwala gwa Nakivubo gubadde gufuuse mpuku y’ababbi nga buli asala ensawo n’okunyakula ebintu ku
atambuze mw’addukira. Ku buyonjo nti, kigenda kutangira abasuulamu kasasiro nga gukuumibwa n’okulabirirwa obulungi omuli n’okufuuyira ensiri n’okutta ebiwuka ebirala ate n’ekivundu ekibadde kiguvaamu mu biseera by’omusana ng’amazzi gakendedde kumalibwewo.
Kyokka balabudde nti, enzimba eteekwa okuba ey’ekikugu nga ddala ebintu Hamis Kiggundu bye yayogeddeko mu pulaani gye yatute mu KCCA nga okugugaziya, okuguyonja wansi n’okuguteekako ebifo abantu we batuula ne bawummula n’okulaba omupiira waggulu ku bizimbe nga byonna bikoleddwa mu mateeka.
Wiiki bbiri eziyise, kkanso ya KCCA ekubirizibwa, sipiika Zahara Luyirika Maala yayisizza ebiteeso 15 omwabadde n’ekikkiriza abagagga bannansi okuweebwa emyala
bagizimbeko n’okugirabirira.
Ku lunaku lwe lumu omugagga Hamis Kiggundu lwe yataddeyo okusaba kwe mu KCCA bamukkirize agukulaakulanye, era bangi ku bakkansala baamuwagidde nga bagamba nti, embeera mwe guli terabisa bulungi kibuga.
EBITEESO 15 EBYAYISIDDWA KU MYALA
KCCA ekkiriziddwa okukolagana ne bamusigansimbi b’omu ggwanga okukulaakulanya emyala nga gibikkibwa n’okuzimbibwako nga bagoberedde pulaani.
Kkanso yagaanye era n’egoba okusaba kwa Loodi Mmeeya Lukwago eyabadde ayagala nti, emitendera gyonna egiyitibwamu okuyisa pulaani y’omuntu agenda okuzimba ku myala n’okufunako ekyapa biyimirizibwe.
Ekiteeso kya Lukwago ekigamba nti, ebizimbe bya Ham Enterprises (U) Ltd ebigambibwa okuzimbibwa ku mwala gwa Jugula nt,i bimenyebwe, bakkansala
baakigobye.
Kkanso yejjeereza kkampuni ya Ham Enterprises (U) Ltd. ne nnannyini yo Hamis Kiggundu eyali essiddwaako emisango era bakkansala ne bagaana okuddamu okumuggulako emipya.
kanso yajeemedde Lukwago eyabadde ateesezza nti, akakiiko akayisa
pulaani z’abagagga abaagala okuzimba ku myala waggulu nti, zonna kaziyimirize.
Okusaba kwa Lukwago nti, Kalisoliisowa Gavumenti anoonyereze ku ngeri abagagga gye baafuna ebyapa ku myala era bakangavvulwe, kino bakkansala baakigobye.
Abakozi ba KCCA omuli n’eyali akola nga dayirekita, Frank Rusa Nyakaana nti, banoonyerezebweeko olw’okuyambako n’okwanguyizaako okuzimba waggulu ku mwala gwa Jugula babonerezebwe, kino bakkansala nakyo baakigaanye nga Lukwago
bwe yabadde ayagala.
Baayisizza nti, basaba babategekere emisomo okubabangula ku pulaani ya KCCA nnamutaayiika ekwata ku ntambula y’emyala mu kibuga bagimanye.
Baayisizza nti, ssente obukadde bwa ddoola 18 ezaatwalibwa mu minisitule ya Kampala ziggyibweeyo ziyiririre abaakosebwa emyala gye giyita basobole okuvaawo gikolebwe.
Ssente z’embalirira ya KCCA eya 2025-2026 zongerweko okuva ku
buwumbi 827, Gavumenti esobole okuteeka ensimbi ku bintu ebibadde birekeddwa ebbali ng’okukola emyala eminene mu Kampala.
Bakkiriziganyizza nti, Gavumenti ekole mangu emyala eminene okuli Nalukolongo ne Kaliddubi egifuuse kattira olw’amazzi aganjaala ne gatta abantu ate n’ebifo eby’obulabe
byonna ebiregamamu amazzi ebiwera 68 bikolebwe.
Baayisizza nti, banoonyereze ku ngeri kkampuni ya SSLOA eyali etwala akatale ka St. Balikuddembe gye yayingiramu ku ttaka lya Klezia y’Abajulizi eya Kijjukizo awaafiira
St. Balikuddembe ne St. Athanasius nga Ssaabasumba bwe yawandiika.
Bakkiriziganyizza nti, KCCA eyongere amaanyi mu kuyoola kasasiro, okusomesa n’okwenyigira mu pulojekizi ezimukolamu ebintu ebirala kitaase abamuyiwa mu myala ne gizibikira.
Baayisizza nti, enkola enkadde ey’okuleka emyala nga gyasamye abantu ne bayiwamu kasasiro n’ababbi okwekwekamu edibiziddwa.
ABAGAGGA N’ABAKULEMBEZE
Ebiteeso bino ebirindiridde minisita wa Kampala, Hajjati Minsa Kabanda okubikakasa, g’amateeka bwe galagira, yategeezezza nti, ensi ezisinga ezikulaakulanye Bannakampala ze beegomba, bw’ogendayo tolaba ku myala.
Yawadde eky’okulabirako ensi nga Nethelands nti, emyala baagikulaakulanya, kyokka kikolebwa oluvannyuma lw’okulung’amizibwa abakugu. Yagambye nti, ne KCCA erina bayinginiya abakugu era asuubira bagenda kuwabula oba
baawabudde kkanso ng’eyisa ebiteeso ebyo.
Kkansala w’e Nakawa, Innocent
Tegusuulwa yagambye nti, kkanso yasazeewo dda emyala gibikkibwe ate gikulaakulanyizibwe era balindiridde minisita kukakasa bye baasazeewo.
Ate omuwandiisi wa LC etwala ekitundu Bashir Ssali, yagambye nti, singa bagizimbako kigenda kutereeza eby’okwerinda n’obuyonjo mu kibuga.
ABAGAGGA
Omugagga eyasabye amannya gasirikirwe, yagambye nti, e China ne Dubai emyala gitwalibwa nga poloti kyokka amateeka agafuga okuzimbako ge gateekeddwa okugobererwa.
Ate Festo Kasajja, yagambye nti, abatafunye mukisa kumanya biri bweru wa ggwanga batunuulire akatale ka St. Balikuddembe, Owino twagizimba ku myala wansi mu myaka gya 80 naye ate mu kyasa kino,” Kasajja bwe yagambye. Yalaze nti, Kampala kifo kya
lutobazzi era abaakisookamu wonna awakuze lwali lusaalu, awali ppaaka enkadde, mpya, akatale ka Kisekka n’awalala nga mwe muli
nzizi abantu mwe bakima amazzi, naye emyala egyali kigatambuza yagenda wa era ebizimbe tebiriiwo? “Twagala ekibuga ekikuze era emyala giyite wansi mu bizimbe ate
ne KCCA ewone ku kugirabirira.” Kasajja bwe yagambye
No Comment