Ekiraamo kya Paapa mu bujjuvu
Apr 24, 2025
Ekiraamo kya Paapa mu bujjuvu

NewVision Reporter
@NewVision
NG’ENNAKU z’omwezi 29 June, 2022 Paapa eyali mu maka ge aga Casa Santa Marta,
yawandiika ekiraamo kye ky’ayagala kituukirizibwe mu, bujjuvu. Olwo yali yaakalwala
evviivi erya ddyo ne lirongoosebwa.
Ekiraamo kino ekyafulumiziddwa amawulire ga Vatican News amatongole aga Vatican, ensi Paapa gy’akulembera nga Pulezidenti ate amawanga amalala n’agakulembera
ng’owenzikiriza, kigamba bwekiti:
Yasooka kulaga w’anaaziikibwa mu Klezia ya Basilica of Saint Mary Major e
Roma so si Vatican. Awo yazzaako essaala ennyimpi gye yawandiika mu Luyitale nti; Miserando atque Eligendo. Ekitegeeza nti; Mu linnya lya Kitaffe. Amiina.
EKIRAAMO KIGENDA BWEKITI
Ng’obudde bwange ku nsi buggwaayo ntuuke mu budde obw’obulamu obutaggwaawo,
nkirabye nga kikulu okubaako kye ndaga ku nsonga ezimu naddala ku bikwata ku by’okuziika kwange.
Obulamu bwange bwonna okuva obuto, okuva nga ndi musosodooti, nga ndi Musumba n’obulala bwonna, mbaddenga neesingira Nnyaffe Bikira Maria Omubeererevu.
Noolwekyo nsaba omubiri gwange guziikibwe mu Klezia ya Basilica of Saint Mary Major. Omwo mwe mba nnindira okuzuukira kwange.
Njagala mpummulire mu Klezia eno ey’ebyafaayo bya Nnyaffe Maria we mbaddenga
nsabira buli lwembaddenga nnina olugendo lw’okubuulira enjiri ya Mukama wange mu mawanga era nga bwe mumanyi, nti nebwe mbaddenga nkomyewo, nga gye nsooka okwebaliza Katonda.
Eyo gyembaddenga mwebaliza okuntambuza obulungi n’okumpa amaanyi okukola emirimu gya Mukama Katonda wange.
Nsaba entaana yange esimibwe mu Klezia eyo wakati wa Klezia ebbiri ezirimu okuli
eya Pauline Chapel n’eya Sforza Chapel.
Entaana yange esimwe mu ttaka nziikibwe awatali kugikolako bya kugiwunda kwonna ate eteekebweko ekintu kimu, ly’elinnya lyange erya Franciscus. Nina omuzirakisa gwe
nnasaba n’akkiriza okusasulira buli kimu ekyetaagisa okuziika kuno era ebiragiro
byonna mbiwadde Kalidinaali Rolandas Makrickas, akulira Basilica eno. Nsaba Mukama awe omukisa n’ebirungi eri abo bonna abazze bansabira mu bulamu
bwange. Obulumi bwe nfunye mu bulamu bwange obusembyeyo, mbuwaayo olw’emirembe mu nsi yonna n’okwagalana eri abantu baamwo
No Comment