Paapa abadde tasosola mu ddiini - Gen. Moses Ali
Apr 24, 2025
OMUMYUKA wa katikkiro owookubiri Gen. Moses Ali akungubagidde Paapa n’agamba nti wadde ye Musiraamu naye yamusisinkana n’amusabira era ekitundu kye eky’Essaza lye Arua kyamufunamu nnyo.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUMYUKA wa katikkiro owookubiri Gen. Moses Ali akungubagidde Paapa n’agamba nti wadde ye Musiraamu naye yamusisinkana n’amusabira era ekitundu kye eky’Essaza lye Arua kyamufunamu nnyo.
Yalaze ebifaananyi ng’asisinkanye Paapa Francis emirundi ebiri ng’akulembeddwa abakulembeze b’eddiini okuva e Madi ne mu ssaza lye Arua ne era baayambibwako nnyo ku bizibu by’ekitundu.
Gen. Moses Ali eggulo yayise bannamawulire ku ofiisi ze mu Kampala n’abalaga ebifaananyi n’okubategeeza ebirungi ekitundu kye bye kyafuna mu bugenyi kwebaasisinkanira Paapa e Vatican.
Yagambye nti waliwo pulojekiti y’okusika amazzi okugabunyisa mu batuuze b’ebyalo mu kitundukye nga bayambibwako ba ffaaza abava mu kitundu ekyo naye nga bakolera Roma.
Yagambye nti pulojekiti ekola bulungi era Paapa abadde tasosola mu ddiini nti n’Abakristu be yagenda nabo yabagabira sappule n’okubawa emikisa ne bafuna bye baagala. Yayongeddeko nti baazimba labalatole mu masomero ag’enjawulo nga obugabirizi bwonna baabufuna mu bugenyi bwe bakyalako ewa Paapa
No Comment