Gavumenti emalirizza okuliyirira abakosebwa omwalo gwa Bukasa

Apr 24, 2025

Enteekateeka z’okuzimba omwalo ggaggadde e Bukasa -Kirinnya mu munisipaali y’e Kira mu Wakiso zongeddwaamu amaanyi.

NewVision Reporter
@NewVision

Enteekateeka z’okuzimba omwalo ggaggadde e Bukasa -Kirinnya mu munisipaali y’e Kira mu Wakiso zongeddwaamu amaanyi. Kino kiddiridde gavumenti okumaliriza okuliyirira bonna abaakosebwa enteekateeka eno. Wabula wabaddewo okusika omuguwa eri abo abaamala okuliyirirwa abeefuulira mu kiti ng’embazzi ne balemerawo nga baagala ate gavumenti ebafunire ekifo w’ebazza.
Apollo Kashanku omukwanaganya wa pulojekiti eno mu minisitule y’ebyenguudo n’entambuia yagambye nti ettaka eriweza Hectares 400 (988.4 acres) kwekugenda
okuzimbibwa omwalo guno ogugenda okuba nga gwe gusoose ate nga gwegusinga obunene mum ggwanga.
Wabula ku Hectares 400 zonna awamu Hectares 266 ( 657.3 acres) ze ziri ku lukalu ng’awasigadde amazzi ga nnyanja. Mu 2017/18 Minisitule yapatana abakugu a Albertine Investments Ltd okubalirira abantu baali beesenza ku ttaka lino eriri ku lukalu mu nteekateeka y’okubaliyirira.
Kashanku agamba nti oluvannyuma aafuna okuwabulwa okuva eri Pulezidenti nti abo bonna abaakosebwa pulojekiti balina okuliyirirwa bintu byabwe omuli ebirime, emiti n’amayumba yadde ettaka lya gavumenti.
Abaasoka okubalirirwa baali 2,378 ku buwumbi 29.2 wabula ne wegattibwako abalala omugatte ne guwera abantu 2,492 ku buwumbi bwa ssente 34.2 nga bano bakola ebitundu 85 ku 100.
Wabula Kashanku agamba nti mu bbanga nga lya mwezi gumu emabega abo bonna ababanja baasasuddwa okuggyako abakyalinaensonga ez’enjawulo . Omwalo guno gugenda kuzimbibwa mu mitendera esatu omuli gw’okusooka okuteekateeka
ekifo n’amakubo agatuukayo nga guno gwatandikibwa. Kuliko ogw’okuzimba omwalo n’okugaziya ekifo kyonna awamu. Gen. Katumba Wamala minisita w’ebyenguudo n’entambuia agamba nti ebigendererwa by’okuzimba omwalo guno kwe kukwanaganya entambula ey’amazzi ne tuleyini mu kaweefube w’okuwewula ku nguudo ku lukululana
z’ebyamaguzi ezizoonoona n’okutumbula eby’obusuubuzi wakati mu mawanga agatwetooolodde.
“Ebyamaguzi bwe biva mu mmeeri oba ebidyeri bigenda kuba nga bitikkibwa ku tuleyini okubituusa we bigenda,” Gen Wamala bwe yagambye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});