Minisita Muhwezi alabudde abalya eza PDM ne bavumaganya Gavumenti ya NRM

Apr 25, 2025

Minisita Muhwezi alabudde abalya eza PDM ne bavumaganya Gavumenti ya NRM

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA w’obutebenkevu mu ggwanga, Maj Gen Jim Muhwezi alagidde poliisi okukwata ab’emiruka okuli Nyarwimuka ne Kikalara mu disitulikiti ye Rukungiri lwa kubulankanya ssente za PDM, Pulezidenti Museveni zeyatekawo okujja abantu mubwavu.
            Yagambye nti bano baalya ssente ezaali zirina okuweebwa abantu buli omu akakadde 1, bbo nebazegabanya nabalala. Yalagidde poliisi okwongera okukola okunonyereza olwo abaali mukulya ssente bonna bakangavvulwe. 
 
Yasinzidde mu baraza eyategekeddwa mu constituency ya Rujumbura mu ggombolola ye Bwambara e Rukungiri, abatuuze gye baamulopedde abakozi ba Gavumenti abaalya ssente za PDM, olwo bbo abatuuze nebafuna bitundu ate abalala nebatafuna wadde.
 
Abatuuze mu miruka egy’enjawulo baalombojjedde Muhwezi engeri gye batambudde ebbanga kyokka nga tebafuna ssente, nga neba ssentebe b’emiruka bwebaddukira eri abakozi ba Gavumenti, tewali kuyambibwa kwebafuna. 
 
Nicholas Byaruhanga okuva mu muluka gwe Kikarara yategezezza Minisita Muhwezi nti yafuna emitwalo 50 gyokka mukifo ky’akakadde, era bwe yatukirira avunanyizibwa ku muluka okumunnyonnyola, teyamuwa budde.
“Minisita tulina ennaku, nyinza okuba nze nvuddeyo okwogerera abalala, naye abakozi ba Gavumenti ku miruka babbi nnyo, nnabuuza lwaki bampadde miktwalo 50, omusajja yanziramu nti oba sizagala nzimuddize.” Byaruhanga bweyayongeddeko.
Minisiter Muhwezi ng'ayogera

Minisiter Muhwezi ng'ayogera

 
Sylvia Akijukire nga ava mu muluka gwe Bwambara, yategezezza Minisita nti yasaba ssente akakadde 1 ayongere mu bizinensi ye ey’amatooke, kyokka kyamwewunyisa ate okumuwa emitwalo 20 nga bweyagenda ew’avunanyizibwa ku muluka, yamutegeeza nga bwebaagabanyizza buli muntu afuneko.
 
Ronald Mugabe okuva mu muluka gwe Rwehama yagambye nti kyewunyisa okuba nga abakulu ku miruka babajjako ssente okusobola okubawa akakadde, ekiviriddeko abamu ssente okuzesonyiwa.
 
Yagambye nti waliwo abantu bebajjako ssente emitwalo 10 n’okweyongera waggulu mbu babawe akakadde, kyokka abamu nebalemwa nga naabo abaaziwaayo tebaafuna kakadde ka PDM ate nga tebafunye nakunnyonnyolwa kutuufu.
Chris Kagayanu ssentebe w’eggombolola ya Bwambara, yagambye nti wadde waliwo ebituli mu ssente za PDM, waliwo abantu abaganyuddwa mu ssente zino era bangi bakyusizza obulamu bwabwe.
 
Yawadde eky’okulabirako ekya ssente obukadde 270 ezawebwa omuluka gwe Rweshama, nti eno abantu baganyuddwa nnyo era abakola bizinensi okuli n’abavubu bizinensi zaabwe zikuze okuva ku bwezaali emabega.
Minisita Muhwezi ng'ayogera

Minisita Muhwezi ng'ayogera

 
Kagayanu yagambye nti ensonga y’okuyiwa enguudo za kkolaasi, okusembeza amazzi, amasannyalaze nebirara nabyo basanyufu kuba Gavumenti yalaze nga bwegenda okubikolako era betegefu okutambula nabagenda okukola pulojekiti ezo.
Minista Muhwezi alaze bwebatadde manifesito ya NRM munkola.
Muhwezi yasiimye Gavumenti olw’okuvaayo netuusa empereza kubantu ezibayambye okwekulakulanya mubulamu bwabwe, ebyenfuna ssaako n’ennyingiza mumaka, nategeeza nti bangi bakuzenyumirizaamu.
 
Yagambye nti Gavumenti efubye okutumbula eby’obulamu, nga mu Rujumbura, eggombolola ye Bugangari yasobodde okufuna Health Centre IV era abantu kati bafuna obujanjabi obw’amaanyi.
 
“Twataddemu ebyuma eby’amaanyi kwoteeka ne ambyulensi, era tusuubira nti abantu be Bugangari ne Bwambara bagenda kulyenyumirizaamu, ate kikendeeze nekundwadde ezibalumbagana.” Muhwezi bweyayongeddeko.
 
Yagambye nti balina pulaani ey’okulaba nga buli ddwaliro lifuna omusawo ate n’amalwaliro gakuzibwe okudda ku Health Centre III kiyambeko okwongera okutumbula eby’obulamu.
 
Yategezezza nga Gavumenti bwegenda okusembeza amazzi e Bugangari ne Bwambara era nga kkampuni ya China Harbour Engineering Company yegenda okukola omulimu guno, nga gwakumalawo obukadde 50 obwa doola.
 
Enguudo okuli olwa Rukungiri-Katoba ne Bikurungu Rweshama, zitunuliddwa okuyibwa kkolaasi kyongere eby’entambula naddala eri abasuubuzi abatambuza eby’amaguzi okwetolola disitulikiti.
 
Yayongeddeko nti abantu basanyufu olw’okufuna ssente za PDM ezibayambye okubaako emirimu gyebakola wadde nga waliwo abamu ate abatafunye nga kiva ku babbi mu ofiisi za Gavumenti, wadde ng’aliko baakutte.
 
Kyokka Muhwezi yagambye nti Gavumenti esanye eddemu yeteregeze kunsonga ya ssente za PDM kuba waliwo disitulikiti ezirina emiruka emitono kyokka nezifuna ssente zezimu neezo ezirina emiruka eminene.
 
“Osanga omuluka nga gulina ebyalo bingi nnyo kyokka nga nagwo gufuna obukadde 100 n’omuluka ogulina ebyalo ebitono. Kino kiviriddeko abamu obutafuna ssente olw’omuwendo gw’abantu okuba omungi.” Muhwezi bweyayongeddeko.
 
Yagambye nti singa Gavumenti etondawo disitulikiti endala okusinziira kubyalo oba wakiri negaba ssente ng’esinziira kubungi bw’abantu kiyambeko buli muntu okuganyulwa munkola ya Gavumenti
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});