Munnayuganda owookuna attiddwa e South Africa

Apr 27, 2025

MUNNAYUGANDA omulala afiiridde mu ntiisa bw’akubiddwa amasasi e South Africa n’afiirawo mu bbanga lya myezi ebiri gyokka oluvannyuma lw’abalala babiri abattiddwa mu nzita y’emu. 

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAYUGANDA omulala afiiridde mu ntiisa bw’akubiddwa amasasi e South Africa n’afiirawo mu bbanga lya myezi ebiri gyokka oluvannyuma lw’abalala babiri abattiddwa mu nzita y’emu. 

Ssaalongo Vincent Ssali ye Munnayuganda owookuna okukubwa amasasi e South Africa mu bbanga lya myezi ena nga kiva ku ddiiru n’obubbi obw’emmundu obukudde ejjembe ku Bannayuganda mu bitundu by’eggwanga lino ebitali bimu.

Okuttibwa kwa Ssali kwavudde ku ddiiru egambibwa nti, yamuyitiddwa mukwano gwe abeera mu kibuga Pretoria bw’atyo n’ava mu kitundu ky’e Tembisa gy’abadde abeera, kyokka yabadde tannatuuka we yabadde alina okusisinkana munne eyamuyise n’agwa mu bazigu ab’emmundu abaamukubye amasasi mu mutwe ne mu kifuba n’afiira mu ddwaaliro e Pretoria abazirakisa gye baamuddusizza ng’ali mu mbeera mbi.

Ali Sekamatte, Ssentebe wa Bannayuganda ababeera mu kitundu ky’e Tembisa yagambye nti, Ssali okuttibwa yabadde aliko akayumba mukwano gwe ke yamuyitidde okugula e Pretoria gye yagwiiridde mu bazigu abaamusse.

Ssekamatte yagambye nti, mu kiseera kino batandise ku nteekateeka ez’okukomyawo kuno omulambo gwa Ssali asobole okuziikibwa ku biggya bya Bajjajjabe e Kyazanga. Yagambye nti, bali mu kwesondamu ssente okumuzza mu bwangu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});