Eyayiira mukazi we asidi asibiddwa emyaka 35
Apr 28, 2025
KKOOTI e Iganga ewadde omusajja eyayiira mukazi we asidi ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35.

NewVision Reporter
@NewVision
KKOOTI e Iganga ewadde omusajja eyayiira mukazi we asidi ekibonerezo kya kusibwa emyaka 35.
Charles Basoga, 50, omutuuze mu kabuga k’e Mayuge mu disitulikiti y’e Mayuge ye yasingiddwa omusango gw’okuyiira eyali mukazi we, Rebecca Babirye asidi nga byaliwo nga June 20, 2019.
Babirye Bba Gwe Yayiira Asidi.
Omulamuzi wa kkooti ento e Iganga, Daniel Epodoi Kiboko ye yamusalidde ekibonerezo ekisanyusizza Babirye n’abooluganda lwe abalala abamaze emyaka 5 nga banoonya obwenkanya.
Bwe yabadde amuwa ekibonerezo kino, omulamuzi yagambye nga yagendereddemu okutangira abantu abalala abayinza okwenyigira mu kikolwa kino eky’obukambwe ekizze kikolebwa abantu ab’enjawulo.
Wabula ku myaka 35, omulamuzi amusaliddeko omwaka gumu gwe yamala ku limanda.
Babirye yategeezezza nga bw’afunye ku buweerero kubanga naye alinga omusibe olw’obulumi bw’ayitamu mu kiseera kino nga takyalaba, okaluubirizibwa okufuuyisa n’okuba nga takyasobola kubaako kye yeekolera.
No Comment