Minisita alagidde ku za PDM

Apr 28, 2025

MINISITA w’obutebenkevu mu ggwanga, Maj. Gen. Jim Muhwezi alagidde poliisi okukwata ab’emiruka okuli Nyarwimuka ne Kikalara mu disitulikiti y’e Rukungiri lwa kubulankanya ssente za PDM, Pulezidenti Museveni ze yateekawo okuggya abantu mu bwavu.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA w’obutebenkevu mu ggwanga, Maj. Gen. Jim Muhwezi alagidde poliisi okukwata ab’emiruka okuli Nyarwimuka ne Kikalara mu disitulikiti y’e Rukungiri lwa kubulankanya ssente za PDM, Pulezidenti Museveni ze yateekawo okuggya abantu mu bwavu.

Yasinzidde mu lukiiko lwe yategese mu ggombolola y’e Bwambara mu konsitityuwensi y’e Rujumbura gy’akiikirira.

 

Abatuuze mu miruka egy’enjawulo baalombojjedde Muhwezi engeri gye batambudde ebbanga kyokka nga tebafuna ssente, nga ne bassentebe b’emiruka bwe baddukira eri abakozi ba Gavumenti, tewali kuyambibwa kwe bafuna.

Nicholas Byaruhanga, okuva mu muluka gw’e Kikarara yategeezezza nti, yafuna emitwalo 50 gyokka mu kifo ky’akakadde, bwe yatuukirira avunaanyizibwa ku muluka okumunnyonnyola, yamugamba nti, bw’aba tazaagala azimuddize.

Sylvia Akijukire, ng’ava mu muluka gw’e Bwambara, yategeezezza nti, yasaba akakadde kamu ayongere mu bizinensi ye ey’amatooke, kyokka baamuwaayo emitwalo 20.

Ronald Mugabe okuva mu muluka gw’e Rwehama yagambye nti, abakulu ku miruka babaggyako ssente okusobola okubawa akakadde, ekivuddeko abamu ssente okuzeesonyiwa.

Wabula Ssentebe w’eggombolola y’e Bwambara, Chris Kagayanu yagambye nti, wadde waliwo ebituli mu ssente za PDM, waliwo abaganyuddwa era bangi bakyusizza obulamu bwabwe.

Minista Muhwezi, yasiimye Gavumenti olw’okutuusa empeereza ku bantu ezibayambye okwekulaakulanya.

Wabula yagambye nti, Gavumenti esaanye eddemu yeeteregeze ku ssente za PDM kuba waliwo disitulikiti ezirina emiruka emitono kyokka ne zifuna ssente ze zimu n’ezo ezirina emiruka eminene.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});