Eyaliko omuduumizi wa poliisi ow'ebikwekweto mu Kampala North Sam Omara, afudde kkansa n'ensigo
Apr 28, 2025
Eyaliko omuduumizi wa poliisi ow'ebikwekweto mu Kampala North Sam Omara, afiiridde mu ddwaaliro e Mulago gy'amaze ekiseera ng'atawaanyizibwa n'obulwadde bwa kkansa n'ensigo.

NewVision Reporter
@NewVision
Eyaliko omuduumizi wa poliisi ow'ebikwekweto mu Kampala North Sam Omara, afiiridde mu ddwaaliro e Mulago gy'amaze ekiseera ng'atawaanyizibwa n'obulwadde bwa kkansa n'ensigo.
Omara, yayatiikirira nnyo mu kiseera kya Walk to Work mwe yafaafaganira ennyo ne Rtd Dr. Kiiza Besigye ng'amugaana okufuluma n'okweyongerayo naddala e Kasangati mu maka ge.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, akubagizza ab'ennyumba ya Omara n'eggwanga okutwalira awamu, olw'okufiirwa omusajja abadde omukozi era n'atendereza emirimu emirungi gye yakola nga tannawummula.
Mu ngeri y'emu era, poliisi egenda mu maaso n'okwekenneenya abo bonna abasabye okuyingira poliisi era nga beetaaga abantu 10,000. Kituuma alabudde okwewala okujingirira.
No Comment