Poliisi eyodde 170 mu kikwekweto e Buwaate
Apr 28, 2025
Ekikwekweto kino kikoleddwa mu bbaala ya Unique mu zzooni ya Kabaawo e Buwaate mu Kira Munisipaali era nga bazudde n'ebigambibwa okuba ebiragalalagala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU 170 be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Buwaate.
Ekikwekweto kino kikoleddwa mu bbaala ya Unique mu zzooni ya Kabaawo e Buwaate mu Kira Munisipaali era nga bazudde n'ebigambibwa okuba ebiragalalagala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti mu bbaala eno kigambibwa nti mwe babadde bagabanira omunyago, balabiramu ebimansulo, nga mubaddemu n'abawala abeetunda.
Ategeezezza nti nnyini bbaala eno, n'abamu ku bakozi, nabo bakwatiddwa ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.
Mu ngeri y'emu era poliisi ekyagenda mu maaso n'okubuuliriza ku bubbi bwa bbanka e Wakiso mwe battidde omu ku bakuumi n'okukwatako abalala.
Ate mu Ndeeba, poliisi ekyabuuliriza ku kyavuddeko omuliro ogukutte embaawo mu Ndeeba ne guzookya mu kiro ekikeesezza leero.
No Comment