Baagala abaviirako ebizimbe okugwa basibwe emyaka 12!
Apr 30, 2025
AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’okuzimba aka National Building Review Board kaagala abakozesa abazimbi b’ekiboggwe ne baviirako ebizimbe okugwa ne mufiira abantu, basibwe emyaka 12 nga omusango gubasse mu vvi.

NewVision Reporter
@NewVision
AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’okuzimba aka National Building Review Board kaagala abakozesa abazimbi b’ekiboggwe ne baviirako ebizimbe okugwa ne mufiira abantu, basibwe emyaka 12 nga omusango gubasse mu vvi.
Minisita w’eby’emirimu n’enguudo, Katumba Wamala wamu n’abakulira akakiiko kano leero balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’okuzimba okwanjula ennongoosereza mu tteeka erirung’amya okuzimba erya Building Control Act.
Gavumenti gye buvuddeko yakomyawo etteeka likolebwemu ennongoosereza oluvannyuma lw’okuba nti ebizimbe bingi bizze bigwa nga abamu bazimba gadibe ngalye nga bakozesa ebizimbisibwa ebitamala kw’ossa n’okukozesa ebintu ebitatuukagana na mutindo wamu n’okukozesa abakozi abatalina bumanyirivu.
Minisita Katumba ategeezezza nti baagala etteeka liwe amaanyi obukiiko bwa building communities nga buno busooka kakasa nti abantu abagenda okuzimba omuli abakuba ppulaani, abasaveya babeera basaanidde.
Katumba era agambye nti abakozesa abakozi ab’ekiboggwe ne baviirako n’ebizimbe okugwa baakusibwa emyaka 12.
Era baagala ebizimbe ebitandikibwa wabula ne bimala emyaka egisoba mu 5 nga tebinnayongerwako okumenyebwa ssinga omuntu abeera tategeezezza kakiiko ku buzibu bwalimu okukimaliriza kubanga ebimu bwe birwawo bikaddiwa ne bibeera nga byabulabe.
Katumba agambye nti abakozesa abataasoma buzimbi balina okufuna bayinginiya abakugu okubalagirira eky’okukola.
No Comment