Emisaala gy'abakwasaganya pulojekiti za Gavumenti zitabudde ababaka!

Apr 26, 2025

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo batabukidde abavunaanyizibwa ku pulojekiti ya GROW olw’okweewa emisaala emisava kyokka abalina okuganyulwa ssente ne zitabatuukaako.

By Edith Namayanja
Journalist @New Vision
Abalabi 1

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensaasaanya y’omuwi w’omusolo batabukidde abavunaanyizibwa ku pulojekiti ya GROW olw’okweewa emisaala emisava kyokka abalina okuganyulwa ssente ne zitabatuukaako.

Aggrey Kibenge Ateekeratekeera Minisitule Y'ekikula Ky'abantu Ng'annyonnyola Akakiiko.

Aggrey Kibenge Ateekeratekeera Minisitule Y'ekikula Ky'abantu Ng'annyonnyola Akakiiko.

Akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Butambala Muhammad Muwanga Kivumbi, leero kasisinkanye abakozi mu minisitule y’ekikula kya bantu evunanyizibwa ku pulojekiti ya GROW nga zino z’ensimbi eziwoolwa abakyala okwejja mu bwavu.

Okusinziira ku alipoota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti, pulojekiti eno yateekebwamu obukadde bwa ddoola 217 (obuwumbi 795) nga ku zino obuwumbi 326 bwokka bwe balekebwa mu minisitule y’ebyensimbi endala ne zirekebebwa okuganyula abakyala.

Wabula, ababaka ku kakiiko batabukidde akulira pulojekiti eno, John Ssengendo bwe baakitegedde nti ono asasulwa obukadde 23 n’ekitundu kyokka nga ssente ze baasooka okuta obuwumbi 10 zaagenda mu zi semina n’abaukuba bulango ng’abakyala bwe batannazifuna.

 

Yadde nga ateekerateekera minisitule eno, Aggrey Kibenge yagezezzaako okunnyonnyola ababaka nti abakozi omusaala baagufuna mu butuufu, ababaka bongedde kutabuka bwe bakitegedde nti omusaala gwa minisitule yonna gwa buwumbi 4 kyokka ate ogwa pulojekiti eno yokka gwa buwumbi 6.

Ssentebe w’akakiiko kano Muwanga Kivumbi agambye kyannaku abakazi abanaku bo tebafuna ku ssente zino. Ono era gambye nti emisaala gya bano gimalamu amaanyi nga baweebwa pulojekiti y’ensonga bazisuulawo bo nga bamaze okwekkusa.

Related Articles

No Comment