Omusuubuzi w’omu Kampala afiiridde mu jjiimu ng’akajjuza

Apr 30, 2025

ENTIISA ebuutikidde ekibuga Kampala, omusuubuzi ow’amaanyi era abadde empagi luwaga mu Busiraamu mu bukulembeze bwa Supreme Mufti e Kibuli bw’afiiridde mu jjiimu ng’asitula obuzito. 

NewVision Reporter
@NewVision

ENTIISA ebuutikidde ekibuga Kampala, omusuubuzi ow’amaanyi era abadde empagi luwaga mu Busiraamu mu bukulembeze bwa Supreme Mufti e Kibuli bw’afiiridde mu jjiimu ng’asitula obuzito. 

Hajji Abas Kasagga 70, abadde akulira ba Sheikh abakulu b’Amatwale mu Uganda yonna wansi w’obukulembeze bwa Uganda Muslim Supreme Council e Kibuli, yasimbudde mu maka ge e Muyenga ku Mmande ku makya n’agenda mu jjiimu nga bw’abadde atera okukola okusitula ebyuma mu kifo ekimu (amannya gasirikiddwa).

Kyokka olwabadde okusitula ebyuma, banne be yabadde nabo baalabidde awo ng’atalantula agwa eri era teyazzeemu kwogera.

Amama Mbabazi (ku Kkono), Omulangira Nakibinge N’omumyuka Asooka Owa Katikkiro Haji Twaha Kawaase Mu Kusaalira Omugenzi E Kibuli.

Amama Mbabazi (ku Kkono), Omulangira Nakibinge N’omumyuka Asooka Owa Katikkiro Haji Twaha Kawaase Mu Kusaalira Omugenzi E Kibuli.

Mikwano gye egyabaddewo gyamuyoddeyodde okumuddusa mu ddwaaliro e Kibuli, naye baabadde baakamutuusaayo abasawo ne bakabatema nti yabadde amaze okufa.

Emiranga gyasaanikidde eddwaaliro ly’e Kibuli okuva mu booluganda n’emikwano oluvannyuma lw’amawulire g’okufa gwa Haji Kasagga okusaasaana olw’enfa eno eyabadde ey’ekibwatukira.

Ku Mmande olw’eggulo omulambo gwatwaliddwa ku muzikiti e Kibuli ne bagusaalira era abantu ab’enjawulo ne bamwogerako ng’abadde omuntu mulamu. Yaziikiddwa eggulo e Ngando- Butambala gy’azaalibwa.

Supreme Mufti Galabuzi (owookubiri Ku Kkono) Ng'akulembeddemu Okusaalira Omugenzi.

Supreme Mufti Galabuzi (owookubiri Ku Kkono) Ng'akulembeddemu Okusaalira Omugenzi.

Jajja w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge yagambye nti Hajji Kasagga abadde mwesimbu nga taliimu makwekansaamu gonna nga bwekiri ensangi zino mu basajja bakulu abamu era ng’alumirwa Obusiraamu.

Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi yategeezezza abakungubazi ng’Obusiraamu bwe bufiiriddwa omusajja atabadde munnanfuusi nga bwe guli ku bantu bangi ensangi zino.

Eyaliko Katikkiro wa Uganda, Amama Mbabazi yagambye nti Kasagga y’omu ku bavubuka abato abeegatta ku kibiina kya FRONASA ekyalwanyisa obukulembeze bwa Idd Amin kuba yalabirawo obuzibu obwali bwolekedde eggwanga.

Dr. Adrian Kakooza Mugenyi yagambye nti omuntu yenna awezezza emyaka 30 kikulu nnyo okukola dduyiro buli lunaku n’okugenda mu jiimu naye ng’alina kusooka kwekebeza n’okwebuuza ku basawo abakugu mu byentambula y’omubiri gwe.

Yagambye nti abantu bangi bettanidde okugenda mu jiimu ne sauna naye obuzibu tebasooka kwekebeza birwadde bye bayinza okuba nga batambula nabyo. Kibeera kikyamu omuntu okugenda mu jjiimu oba mu sauna ng’olina ebirwadde ebikutawaanya n’otasooka kufuna musawo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});