KCCA eboye ente ezaasangiddwa mu muddo ku nkulungo y'e Bwaise

May 02, 2025

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne babowa ente zonna ezibadde zitaayaayiza ku luguudo lwa Northern Bypass ne bazitwala mu lufula nga balanga bannyini zo obutazifaako.

NewVision Reporter
@NewVision

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne babowa ente zonna ezibadde zitaayaayiza ku luguudo lwa Northern Bypass ne bazitwala mu lufula nga balanga bannyini zo obutazifaako.

Ekikwekweto kino kyatandikidde ku nkulungo e Bwaise ku luguudo lwa Northern Bypass abaserikale ba KCCA  bwe baasanzeewo ente ezaabadde zitudde mu muddo nga kiraga nti nnyini zo yazitadde zigende zifune ekyókulya  ne zisibira mu muddo gwóku nkulugo ogutakkirizibwamu kintu kyonna.

 

Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwabiine yagambye nti waliwo bannannyini bisolo abagufudde omuze okubiyimbula ne bitaayaayiza mu makubo mu Kibuga so nga  kino tekikkirizibwa ekyawalirizza ekitongole okusindika abaserikale baakyo okubibowa.

"Waliwo abantu abalina ebisolo mu kibuga abatabifaako naddala ente, embuzi, endiga n’ebirala abatabifaako ne babireka ne bitaayaayiza ku nguudo mu Kampala.

Yasabye kino bakikomye kuba ekibuga Kampala si ddundiro era  ebinaasangibwa byakuboyebwa bitwalibwe mu lufula.

Yagambye nti kizuuliddwa nti ebimu bikyafuwaza enguudo, okwonoona omuddo ogwasimbibwa era nti ente ezaasangiddwa ku nkulungo y’e Bwaise zaabadde mu muddo. Nuwabiine bwe yategezezza.

Yagambye nti ebisolo byonna ebiboyebwa okubiddiza bannyini byo basooka kutwalayo obukakafu  nti byabwe era ne balaga ne gye babitwala okubirundira nga ssi mu kibuga Kampala kuba okubireka ne bitaayaaya kiraga nti tebalina waakubirundira.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});