Nnaabagereka asabye abakyala okukuuma omutindo mu bye bakola

May 02, 2025

Yasinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Abakyala mu Buganda ng’ebijaguzo ebikulu byabadde ku Beatrice SS e Mulagi mu disitulikiti y’e Kyankwanzi n’agamba nti kirungi abakyala okusisinkana buli mwaka okulaba engeri gye bayinza okwesitula mu mirimu.

NewVision Reporter
@NewVision

NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda asabye abakyala okufaayo ku mutindo ku buli mulimu gwe bakola omuva ensimbi.

Yasinzidde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Abakyala mu Buganda ng’ebijaguzo ebikulu byabadde ku Beatrice SS e Mulagi mu disitulikiti y’e Kyankwanzi n’agamba nti kirungi abakyala okusisinkana buli mwaka okulaba engeri gye bayinza okwesitula mu mirimu.

Nnaabagereka Nagginda Ng'asimba Omuti Ku Mukolo.

Nnaabagereka Nagginda Ng'asimba Omuti Ku Mukolo.

“Njagala okubajjukiza nti abakyala tuli kyakulabirako kya maanyi, tufeeyo nnyo ku ndaba y’ebintu ennaku zino. Buli kye tukola tulabe bwe tukikola obulungi ate nga kya mutindo,” Nnaabagereka bwe yasabye abakyala.

Nnaabagereka yeebazizza omukyala Regina Nasseremba ng’ono ye Mumyuka owookubiri ow’Omwami w’essaza ly’e Ssingo ate era omutandiisi w’essomero lya Beatrice SS n’agamba nti alaga eky’okulabirako eri abakyala basobola okutandika mu butono ebintu byabwe ne bigenda nga bigejja.

Nnaabagereka eyabadde akulembeddwamu Minisita w’ekikula ky’abantu mu Buganda, Hajjati Mariam Mayanja, nga tannatuuka mu kifo awaabadde omukolo omukulu, yasoose kulambula mirimu gy’abakyala egy’enjawulo okuli abo abeegattira mu kibiina ekiyitibwa Pauline Juliet Women Empowerment Association ekisangibwa mu tawuni y’e Kiboga. 

Bano baatandika abakyala mukaaga kyokka nga kati bawera 614 ate abaana abawala bawera 1,200 be bakolamu omulimu.

Minisita Mayanja yagambye nti ebikujjuko by’omwaka guno bitambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “ Twongere okuwagira emirimu gy’abakyala olw’enkulaakulana eyannammaddala”.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});