Besigye ne banne bazziddwayo mu kkomera

May 02, 2025

OMUWAABI wa gavumenti mu musango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa Dr. Kiiza Besigye ne banne beemulugunyizza ku bannamateeka be okulwisa okunoonyereza kwabwe. 

NewVision Reporter
@NewVision

OMUWAABI wa gavumenti mu musango gw’okulya mu nsi olukwe oguvunaanibwa Dr. Kiiza Besigye ne banne beemulugunyizza ku bannamateeka be okulwisa okunoonyereza kwabwe. 

Bamuwakanyizza, bakitadde ku Kkooti okubalwisa okubawa omulamuzi anaawulira omusango gwabwe gwe baateeka mu kkooti enkulu.

Dr. Besigye ne banne bwebali ku musango guno okuli; Hajji Obed Lutale ne Capt. Denis Oola baabadde bakomyeewo ku kkooti e Nakawa okumanya oludda oluwaabi welutuuse mu kunoonyereza ku musango guno.

Munnamateeka Erias Lukwago Ng’ayogerako Ne Dr.kiiza Besigye Wamu Ne Hajji Obed Lutale Mu Kkooti E Nakawa. Ku Ddyo Capt.denis Oola

Munnamateeka Erias Lukwago Ng’ayogerako Ne Dr.kiiza Besigye Wamu Ne Hajji Obed Lutale Mu Kkooti E Nakawa. Ku Ddyo Capt.denis Oola

Kino tekisobose kumanyika kubanga waliwo omusango ogwatwalibwa mu kkooti enkulu nga bannamateeka ba Besigye bawakanya ensala y’omulamuzi, Esther Nyadoi eyakkiriza okusaba kw’omuwaabi wa gavumenti okuwulira omusango gw’okukebera amasimu ga Besigye ne Lutale nga tebali mu lujjude lwa kkooti nga ne bannamawulire weebali. 

Fred Mpanga omu ku bannamateeka ba Besigye yagambye nti omusango gwabwe baaguteekayo naye kkooti enkulu ebadde tennabawa lunaku lw’eneeguwulirirako kubanga wabaddewo enkyukakyuka mu balamuzi ba kkooti enkulu.

Birivumbuka yeemulugunyizza nga bannamateeka ba Besigye bwebali mu kubalemesa okumaliriza mu bwangu okunoonyereza kwabwe. 

Bwebatyo tebalina ngeri gyebayinza kumaliriza kunoonyereza kwabwe singa omusango gwa bannamateeka ba Besigye gwe baatwala mu kkooti enkulu teguwuliriziddwa mu bwangu kkooti n’esalawo. 

Lukwago yagambye nti baagala omusango guno guwulirizibwe mu bwangu kubanga abantu baabwe baludde ku limanda.

Yeemulugunyizza eri oludda nalwo okulwawo okumaliriza okunoonyereza kwabwe. Omulamuzi Nyadoi yayongeddeyo emisango gyonna okutuuka nga May 21, 2025.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});