Omara aziikibwa nkya ku Lwomukaaga
May 02, 2025
FFAMIRE y’omugenzi afande Sam Omala esazeewo aziikibwe ku Lwamukaaga nga May 3, 2025. Waakuziikizbwa ku kyalo Senda Pasikula mu ggombolola y’e Kireewa mu disitulikiti y’e Tororo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.

NewVision Reporter
@NewVision
FFAMIRE y’omugenzi afande Sam Omala esazeewo aziikibwe ku Lwamukaaga nga May 3, 2025. Waakuziikizbwa ku kyalo Senda Pasikula mu ggombolola y’e Kireewa mu disitulikiti y’e Tororo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.
Omu ku baana b’omugenzi omukulu, Dvyn Mutukuvu Omala yategeezezza nti bino byakkaanyiziddwako abaffamire. Omala eyayatiikirira ennyo ku kukwata abooludda oluvuganya yafudde ku Mmande obulwadde bwa kansa obumaze ebbanga nga bumuluma.
Yafiiridde ku myaka 64 era abadde yawummula mu poliisi ng’akola mu kitongole kya Arrow Security Group ng’omu ku bakikulira ow’oku ntikko.
Omulambo gubadde gukuumibwa mu ggwanika e Mulago gye gwaggyiddwa ku
Lwokuna ne gukwasibwa Ffamire abaagututte butereevu mu kyalo e Tororo.
No Comment