Basaaye emmere ya bamulekwa ebadde ku yiika bbiri e Nnaggalabi

May 02, 2025

Juliet Kwagala, Isaac Sseggane ne Yosam Nsubuga be bali mu maziga nga bagamba nti bassenga baabwe Martha Nalwoga ne Josephine Namutebi abazaalibwa omugenzi Peter Kizito balina kye bamanyi ku kikolwa kino.

NewVision Reporter
@NewVision

BAMULEKWA balaajana olw’abantu ab’ettima abaasaaye emmere yaabwe eri ku yiika bbiri e Nnagalabi - Buddo mu Wakiso.

Juliet Kwagala, Isaac Sseggane ne Yosam Nsubuga be bali mu maziga nga bagamba nti bassenga baabwe Martha Nalwoga ne Josephine Namutebi abazaalibwa omugenzi Peter Kizito balina kye bamanyi ku kikolwa kino.

Okusinziira ku kiraamo Kizito kye yaleka, yalaamira Wilson Nsubuga okumusikira n’alambika n’engabanya y’ebintu bye mu baana be.

Kwagala agamba nti bassenga baabwe oluvannyuma lw’okufuna omugabo gwabwe ne bagutunda ne guggwaawo balabye, kitaabwe afudde, ne bafuna babbulooka bajje babatwaleko ekibanja kitaabwe kye yabalekera okuli n’emmere.

Baalajanidde aboobuyinza okuli abakulembeze mu kitundu kino, poliisi n’abakulu mu kika kyabwe okubayamba bafune obwenkanya.

Bukedde bwe yatuukiridde Nalwoga ku lukomo lw’essimu, yategeezezza ng’ettaka bwe liri eryabwe era ebiboogerwako bigenderera kutabangula ffamire.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});