Abadiventi batongozza ekibiina ekigatta Ababundabunda

May 03, 2025

EKIBIINA ky’obwanakyewa ekya Adventist Development and Relief Agency Uganda (ADRA) batongozza ekibiina ekigatta ababunabunda ekya Savings and Loans Federations (VSLFs) munkambi ye Rwamwanja ne Kyaka mu disitulikiti y’e Kamwenge.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Willy Semmanda
 
EKIBIINA ky’obwanakyewa ekya Adventist Development and Relief Agency Uganda (ADRA) batongozza ekibiina ekigatta ababunabunda ekya Savings and Loans Federations (VSLFs) munkambi ye Rwamwanja ne Kyaka mu disitulikiti y’e Kamwenge.
 
Enteekateeka eno egendereddwamu okuyamba abantu okweyimirizaawo,okwekulaakulanya  n’okufuna emmere ebamala n’ebitundu ebibaliranye.
 
Bano nga bakoleganirawamu ne minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga n’amawanga okuli Denmark, Novo Nordisk, FAHU Foundation, ne ADRA International, egenderera okwongera ku bungi bw’emmere mu bantu 8,400, ssekinnoomu, nga kuliko ababundabunda 5,880 n’abantu 2,520 mu nkambi zino omwaka gwa 2026 we gunaatuukira.
 
Akulira pulojekiti eno Jerry Kiwanuka, Project yategeezezza nti okutongozebwa kwa kwenkola ey’okutereka n’okwewoola ekya VSLF mu kitundu kino kabonero kakulu mu kussa munkola pulojekiti eno.
 
"Tuli wano okutongozza Village saving and loan Federation (VSLF) zino mu butongole, ezigenda okugatta ebibiina ebitereka ssente n'okuwola ssente mu byalo okusobola okuterekera awamu n’okukulira awamu’’ Kiwanuka bwe yategeezeza.
Ebibiina bino byakuwa bammemba omukutu okugatta eby’obugagga byabwe, okufuna looni, n’okussa ssente mu mirimu egivaamu ensimbi.
 
Pulojekiti eno eye myaka ebiri essira yakuliteeka mukugonjola ebisomooza ababundabunda munkambio ye Kyaka ne Rwamwanja.
 
Omumyuka wa mmeeya we Rwamanja Emmanuel Naturinda yagambye nti engeri yokka abantu gye balina okulwanyisamu obwavu n’abantu okubeera n’essente munsawo yakubeera na mmeere emala nasaba abantu okujjumbira enteekateeka eno.
 
Yalaze okwenyamira olw’ebkolwa eby’obutabanguko mu maka ebyeyongedde ennyo munkambi byagamba nti bikosezamu n’abaana
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});