Ekigimusa kya Organic New Earth kicamudde abalimi
May 03, 2025
Kkampuni ya Dei Group etongozza ekigimusa ekyomulembe kye batuumye ‘Organic New Earth’ (O.N.E) nga kino kigenda kukyusa ebyobulimi mu ggwanga.

NewVision Reporter
@NewVision
Kkampuni ya Dei Group etongozza ekigimusa ekyomulembe kye batuumye ‘Organic New Earth’ (O.N.E) nga kino kigenda kukyusa ebyobulimi mu ggwanga.
Bwe yabadde atongoza ekigimusa kino ku mukolo ogwabadde ku Mestil Hotel mu Kampala, Jimmy Shelock akulira Dei Organics International Limited yagambye nti O.N.E kireeseewo essuula empya mu balimi n’ebyobulimu mu ggwanga.
Yagambye ebigimusa ebisinga ku katale birimu amafuta kyokka ekya Organic New Earth kiri ‘organic’, ekitegeeza nti tekiriimu kkemiko yonna yadde amafuta. Ekisinga okukifuula ekyenjawulo, kiriisa ettaka olwo nalyo ne liriisa ebimera nga Katonda bwe yabitonda okubeera.
Ye Herbert Gasasira, akulira entambuza y’emirimu n’ebyomutindo mu Dei Organic international yagambye nti ekigimusa kino kiyamba okuzza ettaka obuggya. Kikoleddwa mu kalimbwe w’enkoko ne nnakavundira nga bino byonna biva mu butonde bwansi.
Agamba nti ebigimusa ebiva mu mafuta ne kkemiko byonoona ettaka kyokka ekya O.N.E kigenda kuyamba nnyo okugimusa ettaka ey’engeri ng’eyo ate nga kikola ku birime byonna.
Aba Dei GROUP batongozza oluvannyuma lw'okutongoza ekigimusa
Alex Lwakuba, kamisona akola ku birime mu minisitule y’ebyobulimi agamba nti ebirime bya organic byeyongedde okwettanirwa mu nsi yonna era ne yeebaza ba yinvesita bano olw’okuyiiya ekigimusa ya O.N.E ekigenda okutumbula ebyobulimi mu ggwanga.
“Uganda yeesigamye ku bulimi. Eno y’essaawa tuve mu nnima enkadde tweyune ennima eyomulembe etakosa butondebwansi kyokka ng’evaamu ssente,” bwe yagambye.
Shalton Namuwoza akulira National Organic Agricultural Movement of Uganda yagambye nti ekigimusa kino kyongedde amaanyi mu mugendo gwabwe ogw’okulaba ng’ensi erimu emmere eri organic.
Ate ye Matthias Magoola, omutandisi wa Dei Group yagambye nti O.N.E kigimusa kyanjawulo nnyo era nga kikoleddwa kkampuni ya Amerika ng’eno ekozesa ttekinologiya owomulembe ataasa obutondebwensi.
“Omulimi yenna anaakozesa ekigimusa kino agenda kwanguyirwa okutunda ebirime bye mu Amerika,” bwe yagambye n’ayongerako nti bagenda kukitunda me mu mawanga ga West Africa.
No Comment