Essomero lya UPE eryalabikira mu Toto Magazine balitonedde ebitabo
May 06, 2025
Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya gavumenti erya Kilowooza Church of Uganda Primary School erisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono baabugaanye essanyu bwe baabadde bafuna ebitabo okuva ku tterekero ly’ebitabo (National Library) mu Kampala.

NewVision Reporter
@NewVision
Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya gavumenti erya Kilowooza Church of Uganda Primary School erisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono baabugaanye essanyu bwe baabadde bafuna ebitabo okuva ku tterekero ly’ebitabo (National Library) mu Kampala.
Katugisa ng'awa Grace Apolot ebitabo
Kino kiddiridde essomero lino okulabikira mu katabo k’abaana aka TOTO magazine akafulumizibwa Vision Group etwala Bukedde. Mu January waliwo emboozi eyakolebwa ku muyizi Grace Bernice Apolot owa P4 ng’alaga nga bweyali akyusizza library y’essomero. Bwe baamulonda okugikulira omwaka oguwedde, Apolot yateekawo amateeka ku bayizi banne. Okugeza, yasaba bazadde be ssente n’agula ebitabo bibiri ng’ekimu akiwandiikamu abeeyazika ebitabo n’ekirala ng’awandiikamu ebitabo byonna. Era yagaana okuyingiza ensawo mu library yadde okwogereramu.
Emboozi eyo yasanyusa nnyo aba National Library ne basalawo okudduukirira essomero lino.
Apoloti ne Teacher Harriet Robinah Namajja
Wiiki ewedde baawaddeyo bbokisi ssatu omwabadde ebitabo omuli emboozi ez’enjawulo, ebisukka mu 150. Omukolo gwetabiddwako abayizi, abasomesa, omukulu w’essomero Betty Asio n’abekitongole kya Africa Education and Leadership Initiative (Africa ELI) nga nabo bayamba essomero lino.
Bwe yabadde awaayo ebitabo, Adonia Katungisa, kamisona ku minisitule y’ebyenjigiriza yasabye essomero okukozesa obulungi ebitabo bino bisobole okugasa abayizi.
No Comment