Mariam Ndagire atongozza ffirimu ekwata ku tik-tok

May 07, 2025

MARIAM Ndagire bwe yawummuza eby’okuyimba, essira yalissa mu kuzannya ffirimu era afulumizzaayo endala ekwata ku mukutu gwa ‘Tik-Tok’. Agituumye ‘Call 112’ ng’evumirira enkozesa y’omukutu gwa ‘Tik-Tok’ embi naddala mu kugaba amawulire ag’obulimba

NewVision Reporter
@NewVision

MARIAM Ndagire bwe yawummuza eby’okuyimba, essira yalissa mu kuzannya ffirimu era afulumizzaayo endala ekwata ku mukutu gwa ‘Tik-Tok’. Agituumye ‘Call 112’ ng’evumirira enkozesa y’omukutu gwa ‘Tik-Tok’ embi naddala mu kugaba amawulire ag’obulimba. Mariam Ndagire agamba nti mu biseera we yabeerera ow’akabi mu kuyimba, yawandiikibwako ebintu bingi ebimu nga si bituufu nga wano we yaggye ekirowoozo kino, okuzannya ffirimu ku bulimba olwo abasuubira okubukolera ku ‘Tik-Tok’, bayinza okwekuba mu mutima. Mariam Ndagire ne banne okuli; Blair Koono, Usama Mukwaya, Meddy Sserwadda n’abalala okuva mu kibiina ekya ‘KAS’ bagamba nti ekigendererwa kya ffirimu kyakugezaako kulaga obulungi n’obubi obuli mu kukozesa omukutu guno. Tik-Tok gwe gumu ku mikutu gy’oku mutimbagano egisinga okwettanirwa abantu ensangi zino.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});