Supamaketi ekutte omuliro e Busega

May 08, 2025

EMMAALI y’omugagga w’e Busega, John Bosco Muzirango ebalirirwamu akawumbi n’okusoba etokomokedde mu nnabbambula ’omuliro ogwakutte supamaketiye eya Smart Mini e Busega

NewVision Reporter
@NewVision

EMMAALI y’omugagga w’e Busega, John Bosco Muzirango ebalirirwamu akawumbi n’okusoba etokomokedde mu nnabbambula ’omuliro ogwakutte supamaketi
ye eya Smart Mini e Busega. Supamaketi esangibwa Busega okuliraana essundiro ly’amafuta erya Shell. Omuliro gwatandise ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi
ku Lwokubiri era kyatwalidde poliisi y’abazimyamwoto n’abadduukirize essaawa ezisoba mu 10 okuguzikiriza.
Mutabani wa Muzirango, Adrian Ssegirinya, omu ku baabaddewo ng’omuliro gutandika
yannyonnyodde nti gwatandikidde  ku mwaliiro ogwa wansi ne gwambuka waggulu  kyokka gwabadde mungi nga kyabadde  kizibu okubaako bye bataakiriza.
Yagambye nti ssaawa nga ziyingira 3:00 ez’ekiro, mmotoka ezizikiriza omuliro zaatuuse ne bagezaako okukuba ebituli mu bisenge okusobola okuzikiriza omuliro ogwabadde gumaze okusaasaanira ekizimbe kyonna.
Tubadde twakatikkula emmaali y’ebikozesebwa mu masomero era yonna yatokomose,” Ssegirinya bwe yategeezezza Yagasseeko nti ng’oggyeekoebintu ebyayidde, baafi iriddwa ne ssente enkalu ezitannamanyika muwen o ssaako ebiwandiiko eby’omugaso.
Wabula beebazizza Katonda kubanga tewali yalumiziddwa oba okufi irwa obulamu.
Mu maaso ga supamaketi, Muzirango abadde atundirawo mmotoka era abadduukirize
baasobodde okuziggyawo nga tezinnakwata muliro. Omuliro guteeberezebwa okuva
ku masannyalaze nga kigambibwa  nti wansi waabaddeyo omusajja eyabadde ayokya ebyuma ng’obuliro obwasammuse bwe bwavuddeko akabenje. Ekifo kino kyetooloddwa amaduuka  agatunda ebintu eby’enjawulo okuli ebizimbisibwa, engoye n’amayumba agasulwamu. Sgt. Erias Wakalya okuva mu kitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro yawadde bannannyini bizimbe amagezi okweyambisa ekitongole kyabwe bulijjon basobole okubawabula ku ngeri y’okwetangiramu obubenje bw’omuliro.
OMULIRO OGUZZE GWOKYA  EMMAALI Y’ABASUUBUZI
Wiiki ewedde omuliro gwasaanyizzaawo emmaali y’abasuubuzi b’embaawo e Ndeeba mu Kampala.
April 2024, omuliro gwasaanyaawo emmaali y’abasuubuzi mu Ghetto y’e Mulago.
June 2023, omuliro gwasaanyaawo emmaali y’abasuubuzi ku
kizimbe kya Mugerwa & Sons e Nateete

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});