Mmengo eyongedde kaweefube okutumbula ebyobulimi

May 08, 2025

MMENGO esse omukago n'ekitongole kya AKVO International okutumbula obulimi, obulunzi n'obutonde bw'ensi okuyita mu kubunyisa ebyuma ebifukirira ebirime, ebitaasa obutonde bw’ensi ku miwendo ogusoboka.

NewVision Reporter
@NewVision

MMENGO esse omukago n'ekitongole kya AKVO International okutumbula obulimi, obulunzi n'obutonde bw'ensi okuyita mu kubunyisa ebyuma ebifukirira ebirime, ebitaasa obutonde bw’ensi ku miwendo ogusoboka.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa ye yakuliddemu omukolo gw'okulaba ng'endagaano zino zissibwako emikono.
Yasabye abalimi okwekwata tekinologiya w'ebyobulimi ono Kabaka gw’abasakidde bongere okwekulaakulanya.
Yagambye abantu ba Kabaka bangi naddala abalimi abatawaanyizibwa omusana
ng'obulokovu bwabwe buyimiridde ku kwekwata nkola ez'omulembe mu bulimi okuli
okufukirira.
Minisita w'amazzi, obutonde bw'ensi n'ekikula ky'abantu, Hajjati Mariam Mayanja  yategeezezza nti, omukago guno gujjidde mu kiseera ekituufu nga Gavumenti ya Kabaka eri mu kaweefube w'okutumbula emmwaanyi n'okusimba ekibira kya Kabaka mu masaza. Akulira emirimu mu Akvo International, Victor Kazimiri yategeezezza nga bwe bagenda
okubunyisa tekinologiya w'amazzi amayonjo n'okufukirira okwetooloola amasaza gonna nga bagenderera okulaba ng'ennyingiza y'abantu erongooka. Minisita Mayanja yataddeko
omukono ku lw'Obwakabaka ate Kazimiri ku lwa AKVO ng'enteekateeka eno yaakumala emyaka etaano

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});